
Ttiimu y'abavuzi abakikiridde Uganda.
TTIIMU ya Uganda eya ddigi yalaze kyerinawo bwe yamalidde mu kyokusatu mu mpaka za Afrika eza ‘FIM Motorcross Championship' ezaabadde e Harare, Zimbabwe.
Empaka zino zaamaze ennaku ssatu nga Uganda yakiikiriddwa ttiimu y'abavuzi 37 okuva mu mitendera egy'enjawulo.

Musaayimuto Alon Orland yayolesezza omutindo ogw'enjawulo bwe yasitukidde mu ngule ya 2019 ku mutendera ogwokutaano (MX65cc) mwe yameggedde abavuzi okuva e South Afrika.

Abavuzi abalala okw'abaddeko; Gift Sebuguzi, Asraf Mbabazi, Pascal Kasozi, Kreidah Nsubuga, Miguel Katende, Jonathan Katende, Liam Ntale, Stav Orland, Fortune Sentamu ne Waleed Omar be bamu ku bavudde mu mpaka zino nga batenderezebwa olw'omutindo gwe baalaze.
Guno mwaka gwakubiri nga Uganda ekwata ekyokusatu mu kuvuga ddigi mu Afrika. South Afrika ye yakulembedde Zimbabwe n'emalira mu kyokubiri. Mu mawanga amalala kw'abadeko; Kenya, Morocco, Botswana ne Zambia.