
Ttiimu ya Wakiso Giants.
BUL - Busoga United 10:00
Onduparaka - Vipers 10:00 guli ku TV
Bright Stars - Wakiso Giants 10:30
ENKYA (Lwakusatu), liigi ya Uganda eya ‘StarTimes Uganda Premier League' lw'eddamu okutogyera ku bisaawe eby'enjawulo.
E Wankulukuku aba Bright Stars gye bagenda okubeera nga bayigga buwanguzi obusooka bukya liigi egyibwako akawuuwo omwezi oguwedde. Bagenda kuttunka ne Wakiso Giants etendekebwa Kefa Kisaala nga bano bali ku ffoomu oluvannyuma lw'okumegga URA ne Tooro United.

Bright Stars tennawangulayo mupiira gwonna sizoni eno mipiira esatu gye yakazannya okuli; Busoga United, Vipers bagikuba ate Express bakola nayo maliri. Balina akabonero kamu.

Omutendesi wa Bright Stars omujja Muhammad Kisekka eyazze mu bigere bya Fred Kajoba mu kaseera kano ali ku puleesa oy'okufuna obuwanguzi obusooka ku Wakiso Giants eyakeesogga liigi.

Kefa Kisaala atendeka Wakiso awanda muliro nti tagenda kusuula mupiira gwonna kuba ttiimu ye yakoledde oluvannyuma lw'okuwangula emipiira ebiri egy'omudirigana.
"Abazannyi bange abasinga bonna bakomyewo era bali mu mbeera nnungi, omupiira guno tugenda kugukwata bulungi okulaba nga tufuna obuwanguzi," Kisaala bwe yategeezezza.
Wakiso ekwata kifo kyakuna n'obubonero 6 ate nga Bright Stars y'emu ku zikoobedde.