TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Abebikonde basimidwa okukola obulungi mu gya Afrika

Abebikonde basimidwa okukola obulungi mu gya Afrika

Added 12th September 2019

Abaddukanya ebikonde basabya Gavumenti okubeera n'obwenkanya ng'esiima bannabyamizannyo

TTIIMU y'eggwanga eyeebikonde ‘The Bombers', esiimiddwa olw'okukola obulungi mu mizannyo gya Afrika egyabadde mu kibuga Rabat ekya Morocco, wakati wa August 19-31.

Ku midaali 10 Uganda gye yawangudde, abeebikonde baawanguddeko 3, okwabadde egya feeza egyaleeteddwa Isaac Masembe ne David Kavuma Ssemujju, n'ogwekikomo ogwawanguddwa Hellen Baleke.

Ku kabaga akategekeddwa okusiimirako abazannyi b'ebikonde ku Kati Kati ku Lwokusatu, Moses Muhangi, pulezidenti w'ekibiina ky'ebikonde ekya UBF, kwe yasiinzidde okusaba Gavumenti  okuba n'obwenkanya mu mizannyo gyonna egiba gikoze obulungi.

"Ebikonde byakoze kinene okuyamba Uganda okumalira mu kifo ekya 26 ku nsi 53, era abazannyi basaana okusiimibwa okusukka ku mmere ebaweereddwa ," Muhangi bwe yagambye.

Muhangi era yawadde Masembe, Ssemujju ne Baleke 1,000,000/- buli omu, ng'akasiimo olw'okuwangula emidaali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....