TOP

Proline esaliddwako obubonero 6.

Added 12th September 2019

Okugaana okuzannya ne SC Villa e Lugogo kusazizzaako Proline obubonero 6.

 Ttiimu ya Proline.

Ttiimu ya Proline.

Proline FC ezannyira mu liigi ya babinywera eya ‘StarTimes Premier League' ekiguddeko akakiiko akakwasibwa empisa aka ‘FUFA Competitions Discipinary Panel' (CDP) bwe kabasazeeko obubonero 6 ne ggoolo 6 oluvannyuma lw'okugaana okuzannya omupiira gwaabwe ne SC Villa ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde.

Mu bbaluwa eyayise ku mukuttu gwa FUFA yalaze nti Proline omusango gwagisse muvvi olw'okugaana okugondera amateeka liigi y'eggwanga kwetambulizibwa.

Proline FC bagitanzizza 5,000,000/- ng'era ye ttiimu eyookubiri okusalwako obubonero nga yeegasse ku Police FC etalabikako ku mupiira gwa Onduparaka.

 enerd uwanga ku ddyo ngattunka ne easer khuti ku kkono Benard Muwanga ku ddyo ng'attunka ne Ceaser Okhuti (ku kkono)

 

Ku bubonero obwasaliddwa ku Proline, SC Villa bagiwaddeko busatu ng'era mu kaseera kano yeekulembedde liigi n'obubonero musanvu.

Kigambibwa nti Proline yawandikira FUFA ebbaluwa ng'ebategeeza nga bw'etagenda kuzannya mupiira olw'abazannyi baayo Mustafa Mujuzi ne Bright Anukani abaali ku ttiimu y'eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Apoo (ku kkono) n’abaana be. Ku ddyo ye Kamuli.

Ssemaka atiisizza okutta mu...

SSEMAKA yeeweredde okutta mukazi we lwa kugaana kuggyamu lubuto lwa balongo. Obutakkanya buno buli wakati wa...

Mmotoka ya Poliisi ebadde e...

Bino bibaddewo ku ssaawa ssatu ez'okumakya ga leero ku Lwokutaano e Kabowa we bayita ku katale ka Kidomoole ku...

Buli musajja gwe nfuna ande...

NZE Joan Nankya mbeera Kyebando mu zzooni ya Kanyanya. Twasisinkana ne baze my 2017 e Bwaise mu mbaawo nga ntambuza...

Omuwala gwe njagala ang'amb...

NNINA emyaka 23 ate omuwala gwe njagala alina emyaka 19. Omuwala ono kati angamba nti simalaako kubanga tetumalira...

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...