TOP

She Cranes yeetegekera za Afrika

By

Added 17th September 2019

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika

 Racheal Nanyonga ku kkono ne Betty Namukasa mu kutendekebwa ku Mmande

Racheal Nanyonga ku kkono ne Betty Namukasa mu kutendekebwa ku Mmande

 

EKIBIINA ekifuga omuzannyo gw'okubaka mu Uganda (UNF) kigobye abatendesi  ba ttiimu y'eggwanga, eya She Cranes, ne kisalako n'abazannyi basatu, nga beetegekera empaka za Afrika ezigenda okubeera mu South Afrika, omwezi ogujja.

Vincent Kiwanuka, abadde omutendesi omukulu, n'omumyuka we Nelson Bogere baagobeddwa ne basikizibwa Rashid Mubiru ng'amyukibwa Robert Kisitu. Kiwanuka ne Bogere be baali ne She Cranes mu World Cup eyali mu kibuga Liverpool mu Bungereza, mu July.

Ku Mmande , She Cranes yatandise okutendekebwa ku MTN Arena e Lugogo, nga yeetegekera okweddiza ekikopo kya African Netball Championship.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....