TOP

Liverpool ne Napoli zeewulira amaanyi

Added 17th September 2019

Ancelotti, atendeka Napoli agamba nti Liverpool temutiisa.

 Mane owa Liverpool ng'attunka n'abazannyi ba Napoli

Mane owa Liverpool ng'attunka n'abazannyi ba Napoli

LIVERPOOL ye kyampiyoni wa Bulaaya era ennaku zino, eri ku ffoomu nnungi nnyo. Emipiira 5 egyakazannyibwako mu Premier, gyonna egiwangudde nga ku wiikendi, yawuttudde Newcastle ggoolo 3-1.

Esisinkanye Napoli, etennamuka bulungi nga mu mipiira gye yaakazannya mu liigi ya Yitale, ewanguddeko ebiri ne bagikuba gumu.

Leero ku Lwokubiri, bazannya mu Champions League mu mupiira ogusoose ogw'ekibinja. Kyokka omwaka guno, zaasisinkanye nga zeetegekera sizoni, wabula Napoli n'ewuttula Liverpool ggoolo 3-0.

Wabula Jurgen Klopp atendeka Liverpool agamba nti guno mupiira gwa kigendererwa nga tayinza kusamagira. Ne Carlo Ancelotti owa Napoli, naye yeewulira amaanyi agamegga Liverpool. Nsiike ya leero ku Lwokubiri mu Champions League.

Lwakubiri mu Champions League;

Lyon - Zenit, 1:55

Inter - Slavia Praha, 1:55

Chelsea - Valencia, 4:00

Ajax - Lille, 4:00

Benfica - RB Leipzig, 4:00

Dortmund - Barcelona, 4:00

Napoli - Liverpool, 4:00

Salzburg - Genk, 4:00

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo