TOP

Sipiika Kadaga asuubizza abeebikonde

Added 24th September 2019

Sipiika Rebecca Kadaga asuubizzaokukwasiza ku beebikonde, n'okulaba nga bafuna ensimbi ezimala okuva mu Gavumenti

 Sipiika Rebecca Kadaga (ku kkono) ne Moses Muhangi owa UBF

Sipiika Rebecca Kadaga (ku kkono) ne Moses Muhangi owa UBF

BYA FRED KISEKKA

SIPIIKA wa palamenti, Rebecca Kadaga, asuubizza okukwatizaako abeebikonde ku nsonga ezibaluma.

Yabadde asisinkanye Moses Muhangi, pulezidenti w'ekibiina kya UBF,  ekiddukanya ebikonde mu ggwanga,eyamukyaliddeko mu ofiisi ye mu Kampala.

Kigambibwa nti akafubo kano, akatakkiriziddwaamu baamawulire,  kaaluubiridde kutema mpenda ku ngeri ebikonde gye bigenda okuyambibwamu kubanga bimaze ebbanga nga tebifibwaako kimala.

"Ndi musanyufu olwa sipiika okukkiriza okunsinsikana kuba mbadde mmaze ebbanga ddene nga mmuwandiikira. Yatusuubizza okusakira ebikonde mu Gavumenti nga bwazze akola ku ttiimu y'eggwanga ey'okubaka ne mu mizannyo emirala" Muhangi bwe yategeezezza oluvannyuma.

Muhangi yagasseeko nti Kadaga era yasuubuizza okutunula mu nsonga y'okuba nti ebikonde tebiweebwa nsimbi zimala okuva mu Gavumenti. 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...