TOP

Kitunzi wa Pogba amwagalamu akawera

Added 25th September 2019

Raiola agamba nti ManU bw'eba yaakwongera Pogba endagaano, erina okumufuula omuzannyi asinga okusasulwa mu ManU.

Raiola

Raiola

MINO Raiola, kitunzi wa Paul Pogba alaze nti tasiba zikweya bw'ategeezezza nti omuzannyi we bw'aba wakussa omukono ku ndagaano empya, alina okwongezebwa omusaala n'atuuka ku pawundi 600,000 buli wiiki.

Kitunzi ono ye yali apika Pogba ave mu ManU yeegatte ku Real Madrid wabula akatale k'abazannyi kaggwaako, ng'ekiruubirirwa kye tekiyiseemu.

Ennaku zino, ManU epika Pogba asse omukono ku ndagaano empya olw'abakungu baayo abagamba nti bamulabamu ekitone, ekisitula ttiimu naddala mu kaseera kano nga tekola bulungi.

Wabula olupapula lw'amawulire olwa Diario Madrista olw'e Spain, lwalaze nti Raiola, yaakukaka ManU esasule omuzannyi we obuwanana bw'ensimbi ekiyinza okubalemesa ne bamutunda kuba ye ky'ayagala kumuggya mu ManU. Endagaano ya Pogba ne ManU eggwaako mu 2021.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...