TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Amasomero 1,463 gasiimiddwa mu kazannyo ka Coca Cola

Amasomero 1,463 gasiimiddwa mu kazannyo ka Coca Cola

Added 26th September 2019

Buddo S.S, Kanyabwanga SS, Kitimbwa Bright Future SS ne Teso Intergrated SS ge gamu ku masomero agawangudde ebirabo eby’enjawulo mu mpaka z'okukung'anya obucupa.

 Abayizi ba Buddo SS nga bajaganya oluvannyuma lw'okulya akendo mu bannaabwe mu kukunganya obucupa

Abayizi ba Buddo SS nga bajaganya oluvannyuma lw'okulya akendo mu bannaabwe mu kukunganya obucupa

AMASOMERO 1,463 agetaba mu kazannyo ka kkampuni ya Coca Cola aka ‘Copa Coca Cola-Recycling' gawangudde ebirabo.

Empaka zino zimaze emyezi ena ng'abayizi n'amasomesa okuva mu bitundu eby'enjawulo bakung'anya obucupa bwa pulasitiki okuli; obwa Rwenzori ne Coca Cola ng'ekigendererwa kya kukuuma kibuga nga kiyonjo.

Buddo S.S, Kanyabwanga SS, Kitimbwa Bright Future SS ne Teso Intergrated SS ge gamu ku masomero agawangudde ebirabo eby'enjawulo.

Sam Kangave maneja wa kampeyini eno yebazizza amasomero n'abasomesa abeetabye mu kazannyo kano n'abasima okubeera oky'okulabirako eri.

 sward yamugisha wakati okuva ku kkono nga bamukwasa ceeki ne aptop Osward Byamugisha wakati okuva ku kkono nga bamukwasa ceeki,TV ne Laptop

 

"Abantu bangi akazannyo kano bakabuusa amaaso okulaba ng'abayizi n'abasomesa nga bagenda mu bifo eby'enjawulo nga bakung'anya obucupa kyawadde ekyokulabira ekirungi nga tulwana okukuma obutonde bw'ensi," Kangave bwe yagambye.

Ebimu ku birabo abawanguzi bye baafunye kuliko; TV, okuddabiriza ekisaawe kyabwe, amasimu, obutimba bwa ggoolo, emipiira, emiti gya ggoolo, emijoozi saako n'abayizi okwewangulira sikaala.  Kanyabwanga SS lye lyasinze okukung'anya obucupa kkiro 9,100 yaddiriddwa Kitimbwa Bright Future SS (kkiro 4,500), Buddo SS (2,500) ne Teso Integrated SS yakung'anyiza 1,630.

St Mary Mary's Kitende be bannantameggwa bw'omwaka guno mu mpaka za Copa Coca Cola bwe bamegga Jinja SS (3-1) e Jinja mu Kakindu Stadium.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...