TOP

ManU erina essuubi mu Pochettino

Added 27th September 2019

ManU ekola bubi ensangi zino ng'abamu bagamba nti ekizibu kiri ku mutendesi Solskjaer gwe balumiriza obutaba na bukodyo.

 Pochettino

Pochettino

MAN United teggweebwako kuyiiya, bw'etandise okutunuulira omutendesi wa Spurs, Mauricio Pochettino singa eneeba egobye Gunnar Solskjaer, ebintu gwe bikyalemye.

Nga ManU yaakagoba Jose Mourinho, yasooka kwagala kukansa Pochettino kyokka n'emwekuba kwe kuleeta Solskjaer.

Sizoni eno, ManU buli omu agisekerera olwa ffoomu embi gy'erina nga mu mopiira esatu egisembyeyo evuyizza n'ekatagga nga ne mu League Cup, kyagyetaagisizza kugenda mu peneti, okuggyako Rochdale.

mutendesi olskjaerOmutendesi Solskjaer

 

Abamu ku bakungu baagala omutendesi agobwe kyokka abalala bagamba nti abalamu abazannyi, nga mu katale ka January, bandiguzeeyo abalala ttiimu n'eggumira kuba na kati, tebannafuna asikira Romelu Lukaku eyagenda.

Wabula waliwo abagamba nti ekizibu kiri ku mutendesi era nga waliwo abaagala baleete Pochettino. Mu Spurs gyali, ne Pochettino tannakola bulungi nga mu Premier eri mu kifo kyamusanvu nga Liverpool ekulembedde, egisinza obubonero 10.

Naye alinga eyetamiddwa embeera kyokka bakama be baakamwongera endagaano. Kiteeberezebwa nti singa ManU emukansa, erina okuliyirira Spurs obukadde bwa pawundi 32.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....