
Akulira emizannyo mu UPDF Col. John Mark Ssemmanda (owokusatu ku kkono) ne pulezidenti wa East African Boxing Union, Major Herbert Ndiwalana (mu ssuuti) nga basiba Abdu Sebute omusipi gwe yawangudde
Omujaasi wa UPDF, Copolo Abdu Sebute afuuse kyampiyoni wa East and Central Africa mu kuggunda ebikonde mu misipi gya Africa Boxing Union mu bizito bwa Super Flyweight (kiro 53).
Akubye Mohamed Swedi owa Tanzania n'awanika mu lukontana olwomusanvu nga babadde balina kulwana enkontana 12.

Byabadde mu kisaawe kya Lugogo Indoor Arena mu kiro ekikeesezza leero (Olwomukaaga).
Sebute agambye nti kati ayagala ngule ya Afrika omwaka ogujja asobole okusoomooza ey'ensi yonna ng'asinziira ku butaka.
Wabula akkirizza nti Swedi tamenye mu jjenje kkalu kubanga abadde amusinga obuzito n'obuwanvu wabula ye (Sebute) akozesezza bwongo.
"Abadde ansinga obuwanvu n'obuzito naye mu bwongo nga mmusinga kye yavudde alaba nga tajja kumalako ne yeekwasa obuvune", Sebute bw'ategeezezza.
Ye omutendesi we Peter Mulindwa Kojja ebeera mu Yitale agambye nti Swedi tabadde mwangu wabula Sebute amusinze lwa busobozi.
Abazannyi ba Uganda abasitukidde mu ngule za East and Central ye Musa Ngege akubye Paul Kimathi owa Tanzania wamu ne John Serunjogi eyakubye Juma Waiswa nga bombi Bannayuganda.
Ate ye Mubarak Sseguya ayakazibwako erya Sensor awangudde engule ya Uganda mu bikonde by'obuzito bwa Super Lightweight (Kiro 63) ng'akubye Wilberforce Ssuuna TKO mu lukontana olwomunaana.
Kati Sebute awezezza ennwaana 7 nga zonna aziwangudde.
Akulira emizannyo mu ggye lya UPDF, Col. John Mark Ssemmanda, pulezidenti wa East Africa Boxing Union Major Herbert Ndiwalana ne Ssalongo Kasawuli Samona be bakwasizza abawanguzi emisipi.