TOP

Eza liigi yababinywera ziri bulindaali

Added 30th September 2019

Liigi ya StarTimes Uganga Premier League ekomyewo ng'abanene okuli Express ne URA banoonya buwanguzi okukendeeza ku puleesa

 Abazannyi ba Bright Stars. Ttiimu yaabwe eyambalagana ne URA mu liigi ku Lwokubiri

Abazannyi ba Bright Stars. Ttiimu yaabwe eyambalagana ne URA mu liigi ku Lwokubiri

Lwakubiri mu liigi

Proline-Express, Lugogo

BUL-Maroons,Njeru

Kyetume-Police,Namboole

Mbarara City-Busoga United,Luzira

Bright Stars-URA,Wankulukuku

OLUVANNYUMA lw'ennaku 17 nga liigi ya babinywera eya StarTimes Uganda Premier League ewumudde, yaakuddamu okutojjera  ku Lwokubiri mu bisaawe eby'enjawulo.

Bright Stars etannaloza ku buwanguzi sizoni eno, ekyaza batabani ba Sam Simbwa aba URA e Wankulukuku, mu mupiira ogwa vvawompitewo kuba abatendesi bombi  bali ku puleesa. Bright Stars etendekebwa Muhammad Kisekka.

 

URA eyingira ensiike eno ng'eyigga buwanguzi bwakubiri sizoni eno, nga baasemba kuwangula Maroons 3-0 nga liigi etandika, wabula okuva olwo ttiimu ebadde tennaddamu kuloza ku buwanguzi.

Mu mirala, Kyetume  eri ne Police,  etannawangulayo mupiira gwonna, Mbarara ekyaza Busoga United  e Luzira sso nga Proline eyaakamegga AS Kigali 2-1 mu mpaka za CAF Confederation Cup, ettunka ne Express eyasembwa okukubwa SC Villa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono