TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutindo gwa ttimu za KCCA gutabudde abawagizi

Omutindo gwa ttimu za KCCA gutabudde abawagizi

Added 30th September 2019

Abawagizi ba KCCA bibatabudde ttiimu y'ekitongole nayo bw'eyolesezza omutindo ogw'ekibogwe

 Charles Otim (ku kkono) owa Vision Group ng'attunka n'omuzibizi wa CIC mu mpaka za Corporate League

Charles Otim (ku kkono) owa Vision Group ng'attunka n'omuzibizi wa CIC mu mpaka za Corporate League

 

OMUTINDO omubi ogwayoleseddwa  KCCA FC mu mpaka za Afrika, kulondodde ne ttiimu yaayo eyekitongole.

KCCA FC yawanduddwa Petro de Luanda okuva mu Angola, mu CAF Champions League oluvannyumalw'abazannyi baayo okwolesa omutindo ogw'ekibogwe, wabula ne KCCA Corporates n'eremwa okuwangula Uganda Coffe Development Authority (UCDA) gye yabadde eyita enjabayaba.

Abazannyi ba KCCA, abaakulembeddwa Henry Ssebunya (kapiteeni), baayingidde ekisaawe nga bagaya aba UCDA, kyokka gye byaggweeredde ng'entuuyo bazisaza bibatu oluvannyuma lwa UCDA okubalemerako n'ebakozesa amaliri ga 0-0.

Embeera eno yatabudde abazannyi ba KCCA ne batandika okweneenya n'okwesongamu enywe nga buli omu alumiriza munne okwemalirira n'okuzannyisa ekyejo.

Mu ngeri y'emu. Vision Group yavudde emabega okukola  amaliri ga 2-2 ne DFCU mu gumu ku mipiira egyanyumidde abawagizi olw'omalirivu abazannyi bwe baayolesezza.

Vision yasoose kuwangula CIC Insurance 1-0 nga tennakubwa CAA 1-0,  bwe bavuganya mu kibinja A ekikulembedwa Centenary Bank ku bubonero 64.

Mu miralala, Hotel Africana yakoze amaliri ga 1-1 ne CIPLA, UBL n'ekubwa Graphic System 2-1, ne Total n'ewangula URA 2-1.

Empaka zino zizannyibwa mu wiiki esembayo ku nkomerero ya buli mwezi

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...