TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Tanzania ne Kenya zaagala fayinolo za CECAFA

Tanzania ne Kenya zaagala fayinolo za CECAFA

Added 1st October 2019

Ttiimu ya Kenya ne Tanzania zirwanira kwesogga fayinolo y'empaka z'abali wansi w'emyaka 20

 Abazanny ba Tanzania nga bajaganya oluvannyuma lw'okuwandulamu Uganda

Abazanny ba Tanzania nga bajaganya oluvannyuma lw'okuwandulamu Uganda

Semi za CECAFA U20

Sudan - Tanzania, 9.00 e Gulu

Eritrea - Kenya, 10.00 e Njeru

Kenya ne Tanzania zitunuulidwa nnyo okusitukira mu mpaka CECAFA U20 Challenge Cup. Zombi zirwanira kwesogga fayinolo y'empaka zino ezannyibwa ku Lwokusatu, nga Kenya ettunka ne Eritrea, sso nga Tanzania eri ne Sudan.

Eritrea y'emu ku ttiimu ezisinze okwolesa omutindo omulungi, ate  Tanzania, eyaggyeemu abategesi (|Uganda) ku ‘quarter', yalumye n'ogwengulu okwetakkuluza ku South Sudan, gye yakubye ggoolo 1-0, eyabadde eyakyetaaba ng'ebula eddakiika ttaano omupiira okuggwa

Okutuuka wano Kenya yakubye Burundi 2-1 ate yo Eritrea yatimpudde Zanzibar  5-0.

Zuberi Katwila, atendeka Tanzania, yagambye nti kebaggyeemu Uganda, tebakyalina ttiimu gye batya.

Fayinolo y'empaka zino ez'etabiddwaamu abavubuka abali wansi w'emyaka 20 okuva mu mawanga 11,ya ku Lwamukaaga mu Pece War Memorial Stadium e Gulu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...