TOP
 • Home
 • Ebyemizannyo
 • By'obadde tomanyi ku Moses Magogo FIFA gwe yawalirizza okudda ebbali abuulirizibweko

By'obadde tomanyi ku Moses Magogo FIFA gwe yawalirizza okudda ebbali abuulirizibweko

Added 1st October 2019

Magogo y'ani?

PULEZIDENTI wa FUFA Ying. Moses Magogo awalirizidda okuva ku bukulu buno olw'emisango gya tikiti za World Cup egyamuwawaabirwa mu FIFA.

Mu Adjumani, Magogo yagambye abakiise be nti;

‘Waliwo omusango ogwampawaabirwa mu FIFA ku ngeri gye nakwatamu tikiti za World Cup ya 2014 ezaaweebwa Uganda ate nga y'engeri y'emu eyakwatibwamu mu ya 2006 ne 2010.

Okunoonyereeza ku nsonga eno kumaze ebbanga era nga fayiro y'omusango esobola okubeerawo okumala ebbanga nga teggalwa ekitaataaganya enkola y'emirimu.

Amawulire amalungi olwaleero gali nti mu mateeka ga FIFA mulimu akawaayiro akanzikiriza okuddako ebbali okumala emyezi ebiri ekole okunoonyereza kwayo era oluvannyuma nzire nkole emirimu gyange.

Mu kaseera kano, Justus Mugisha y'agenda okukola nga pulezidenti wa FUFA era sibuusabuusa busobozi bwe n'abalala be tukola nabo okutwala emirimu gy'ekibiina mu maaso.'

Wabula abakiise baalabise nga batidde wakati mu kunyolwa.

Magogo y'ani?

 • Mu bukulembeze bw'omupiira Magogo yakolako ng'omuwandiisi w'empaka z'akakiiko ka FUFA (2005-2011) ssentebe wa Fufa licensing Board, mmemba ku AFCON 2012, mmemba ku kakiiko ka EXCOM ng'akikirira Kampala, mmemba w'abakiika ku bboodi ya badayirekita ba Nakivubo War Memorial Stadium n'ebirala.
 • Mu August 2013 Magogo yasikira Lawerence Mulindwa.
 • Yasomera Jinja College, Namilyango College ne Makerere yunivasite gye yafunira diguli mu byamasannyalaze mu 1998. Ayingira mu bukulembeze bw'omupiira
 • Yazaalibwa Sam Zziwa Nkinda ne Ruth Bitibane Nkinda ab'e Kamuli mu Busoga. Bazaalibwa abaana musanvu era mu balenzi abana, yekka y'asamba omupiira.
 • Yazannyirako mu Kinyara n'oluvannyuma ne yeegatta ku Mutundwe Lions. Kati ye nnannyini yo.
 • Obukulembeze yabutandika mu 2005 ng'omukiise wa Lubaga mu FUFA. Wabula agamba nti yalina okusoomoozebwa kuba yali akyali muvubuka ate nga Denis Mbidde n'abalala be yavuganya nabo baali bamannyikiddwa nnyo.
 • Mulindwa yamuwa ogw'obuwandiisi bwa liigi n'okutegeka emipiira gya FUFA gyonna, (Competitions Committee) mu 2005. Abadde mumyuka wa Mulindwa akulira obukulembeze mu FUFA (Administration), sso nga ne mu CAF gyali. Magogo si mucakaze era agamba nti obudde bwe obusinga abumalira mu kusoma bitabo, wadde ng'oluusi agenda n'alaba ku rugby e Kyadondo. Obukulembeze.

Engule z'azze awangula mu bukulembeze bwe okuva 2013 okutuusa kati 

 • Uganda Cranes yava mu kibinja okudda ku fayinali za AFCON (Egpt) omulundi ogwasooka okuva mu 1978.
 • Yasikiriza basiponsa mu mupiira ogwa tiimu y'eggwanga ne kiraabu okuva mu gavumenti ne kkampuni ennene.
 • Yatandika ekikoppo kya Super8 ekitwaliramu ababa bakulembedde mu liigi n'abapya abayingira okuva mu liigi ennene eya FUFA big league.
 • Yatandika liigi y'abaana abato eya FUFA Juniors Leage (eyatandika ne U-17 kati U-19)
 • Yatandika liigi y'abakyala eya FUFA Women Elite league mu 2014.
 • Uganda yakyaza AFCON Beach soccer mu 2020.
 • Yaganda yeetaba ku fayinali za AFCON emirundi esatu (Uganda Cranes-Gabon 2017, Egypt 2019) ne (National U-17 in Tanzania 2019).
 • Uganda cranes yafuna ekifo ekya waggulu ekya 62 nga bwe byafulumizibwa FIFA mu 2016.

 EBIRALA KU MAGOGO

 1. Pulezidenti wa FUFA alambudde Bukedde

 2. Magogo atwala Cranes mu World Cup

 3. Magogo alidde esswaga e Switzerland

 4. Magogo takyalina situleesi ya mpewo

 5. Magogo alondeddwa ku kakiiko ak'oku ntikko akakulembera CAF

 6. Omuliro mu FUFA: Magogo ne Lawrence Mulindwa tebakyakoza mu kibya kimu

 7. Muggye entalo mu mupiira

 8. Ebyabadde ku Serena Hotel nga Pulezidenti wa Fifa Gianni Infantino ali ku bugenyi obutongole,

 

 
 
 

 

 
 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...