TOP

Nanyondo ali mu nsiike

Added 2nd October 2019

Mpaka z'emisinde egy'ensi yonna, Leero ku Lwokusatu Nanyondo waakudduka mita 1500 ng'alwana okwesogga semi.

Nanyondo

Nanyondo

LEERO ku Lwokusatu ku ssaawa 11:35 ez'akawungeezi, omuddusi Winnie Nanyondo agenda kubeera mu nsiike mu mita 1500 mu misinde gy'ensi yonna.

Mpaka ziri Doha mu Qatar nga zaatandika ku Lwakutaano. Mu misinde gye yasoose okudduka egya Mmita 800, yamalidde mu kyakuna bwatyo n'asubwa okuwangula omudaali wadde nga munne, Halima Nakaayi yawangudde zaabu.

Ku luno, Nanyondo agenda kuvuganya mu z'okusunsulamu abaneesogga semi mu mita 1500. Mu kibinja kye mwali, Omudaaki Sifan Hassan (3:55.30) ne Munnakenya Faith Kipyegon (3:56.41), be bamusinga obudde obulungi bwe baali baddukidde empaka zino. Ye Nannyondo, obudde obulungi bwe yali addukidde mmita zino buli; 3:59.56.

 anyondo ngattunka Nanyondo ng'attunka

 

Mu ngeri y'emu, mu z'okusunsulamu omutendera ogwokusatu era mu mita 1500 mulimu ne Munnayuganda omulala, Esther Chebet nga naye waakulwana okulaba nga yeesogga semi. Misinde gyakuddukibwa leero ku Lwokusatu ku ssaawa 11:35 ez'akawungeezi.

Ne Sarah Chelangat naye leero ali mu nsiike mu mita 5000 ku ssaawa 12:25 ez'akawungeezi. Chelangat, waakwesigama ku mutindo omulungi gwe yassaawo, ng'awangula zaabu mu mita 3000 mu misinde gy'abato egya Youth Olympic Games egyali mu Argentina omwaka oguwedde.

Eza leero, mita 5000 waakuzidduka ng'aluubirira okuyitawo okwesogga fayinolo naye alwanire omudaali.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...