TOP

Ebya Emery ne Ozil bibuzaabuza

Added 3rd October 2019

Emery agamba nti alina abazannyi ba akademi abamulaze nti basobola era waakubawa omukisa okulaga kye balinawo.

 Emery ne Ozil

Emery ne Ozil

UNAI Emery atendeka Arsenal tatidde kuviibwako Mesut Ozil mu katale k'abazannyi mu January.

Ozil, ye muzannyi asinga okusasulwa mu Arsenal ng'afuna pawundi 350,000 buli wiiki kyokka Emery akyalemeddwa okumuggyamu ekigya mu nsimbi z'asasulwa.

Wadde nga muzannyi waabwe kati, Emery agamba nti eky'okumutunda takirinaamu buzibu kuba kati alina abazannyi abawera abamuwa ky'ayagala ensangi ensangi zino.

Mu mipiira egiyise, Emery yeesigamye nnyo ku bazannyi ba akademi ya Arsenal nga Bukayo Saka ne  Emile Smith Rowe era bafunye omukisa okubeera mu ttiimu etandika. Agamba nti waakwongera okuwa abaana bano omukisa okulaga kye balinawo.

"Buvunaanyizibwa bwange okuwa buli muzannyi omukisa okulaga ky'alinawo era abazannyi bannamukadde ba ttiimu abataasobole kwerwanako, bubakeeredde," Emery bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Badayirekita ba KCCA babiri...

YINGINIYA Andrew Mubiru Kitaka alekulidde emirimu gy’abadde akola mu kitongole kya KCCA. Ono nga y’abadde avunaanyizibwa...

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...