TOP
  • Home
  • Mupiira
  • ManU erina essuubi okufuna wiini mu za Europa

ManU erina essuubi okufuna wiini mu za Europa

Added 3rd October 2019

Omutendesi Solskjaer ali ku puleesa ng'abamu ku baaliko bassita ba ManU bagamba nti 'ebintu' bimulemye.

Solskjaer, atendeka ManU

Solskjaer, atendeka ManU

MANCHESTER United erina essuubi ly'okuwangula omupiira gwayo ogwokubiri mu mpaka za Europa.

Ekyalidde AZ Alkmaar ey'e Budaaki wabula wiiki bbiri emabega, ManU yafuna obuwanguzi ku Astana eyali egikyalidde ku Old Trafford. Ku mulundi guno, ebintu bikyuse nga mu mipiira 3 egisembyeyo mu mpaka za Premier ne League Cup tekuli mupiira gw'ewangulidde mu ddakiika 90.

Kino kyongedde okussa omutendesi Gunnar Solskjaer ku bunkenke ng'abaaliko bassita ba ManU baagala abaviire mu kintu.

Leero ku Lwokuna ku ssaawa 1:55 ez'akawungeezi, ali mu nsiike okukakasa abamugobaganya nti asobola. Wadde ng'alina abazannyi abawerako abalina obuvune, mugumu nti waakuva e Budaaki, n'obuwanguzi. Mu bazannyi ba ManU balina obuvune kuliko; Anthony Martial abulina mu kisambi, Luke Show nga ne Wan Bissaka alinamu obukosefu kyokka ne Paul Pogba, akakongovvule kakyamuluma..

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.