TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Agenze mu kkooti lwa ttiimu ye kugaana kumutunda

Agenze mu kkooti lwa ttiimu ye kugaana kumutunda

Added 8th October 2019

Zaha agamba nti yali yeetegese okuva mu Crystal Palace nga ne ttiimu ezimugula weeziri kyokka ne bamulemesa

Zaha

Zaha

OMUTEEBI Wilfried Zaha atwala kitunzi we, Will Salthouse mu kkooti lwa kulemwa kuyisaamu ddiiru emuggya mu Crystal Palace.

Mu katale k'abazannyi akawedde, ttiimu ez'enjawulo zaali zaagala kumugula okwali Arsenal ne Everton era naye ng'omuzannyi ng'ayagala kuva mu Crystal Palace.

Kyokka enteeseganya tezaavaamu kalungi okukkakkana ng'asigadde. Ye Zaha agamba nti kitunzi we, Salthouse munywanyi nnyo wa Steve Parish, ssentebe wa Crystal Palace nga kyandiba nga baateesa ssita ono asigale. Zaha agamba nti k'amutwale mu kkooti amunnyonnyole ekyamulemesa okukutula ddiiru.

Omwaka oguwedde, Zaha lwe yaweereddwa endagaano empya ey'emyaka 5 era ng'asasulwa pawundi 130,000 buli wiiki. Mino Raiola, kitunzi wa Pogba ayagala kufuuka kitunzi we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...