
Negomba mu mmotoka ye ekika kya Toyota FX , esikira ku mipiira ebiri
OLUVANNYUMA lwa Sadat Negomba okusitukira mu mpaka za mmotoka ezisikira ku mipiira ebiri (2WD), kati yeepira z'e Hoima, ataangaaze emikisa gy'okusitukira mu ngule y'omwaka guno eya NRC2.
Bukya Negomba yeegatta mu lwokaano lwa mmotoka emyaka ena emabega, tabeerangako kyampiyoni wa mpaka zonna, okutuusa mu August w'omwaka guno bwe yeggyeeko ekikwa n'akulembera ez'e Fort Portal.
Ku wiikendi ya October 17-20, abavuzi ba mmotoka lwe baddamu okutokosa ebyuma mu mpaka za ‘2019 Total Kabalega Rally' era Negomba atuula bufoofofo okulaba ng'amegga banne yeewangulire engule ye esoose.

"Nayingira ez'e Fort Portal ng'essuubi ly'engule y'omwaka sirina, naye kati kyengoba nkirabako, njagala kusitukira mu z'e Hoima, nninde ez'e Mbale ," Negomba bwawera
Negomba alina obubonero 45 emabega wa Samuel Watendwa (50) ne Fred Ssenkumba (47), ng'okusitukira mu mgule y'omwaka guno, alina okuwangula empaka ez'emirundi ebiri ezibulayo (Kabalega ne Mbale).