TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Aba famire emu bakukumbye emidaali 25 mu kuwuga

Aba famire emu bakukumbye emidaali 25 mu kuwuga

Added 8th October 2019

Bamusaayimuto okuva mu famire emu beefuze empaka z'okuwuga bwe baawangudde emidaali kumpi kugibamalako

 Abawala okuva mu masomero ag'enjawulo nga battunka mu kuwuga

Abawala okuva mu masomero ag'enjawulo nga battunka mu kuwuga

 

FAMIRE emu  eraze  b'ebadde evuganya nabo mu kuwuga nti baabigere, bwe bakukumbye emidaali 25!

Tendo Mukalazi ne Kirabo Namutebi baalese bannaabwe babanyenyeza mitwe, Mukalazi bwe yawangudde emidaali 10 (egya zaabu 4, feeza 4 n'egyekikomo 2), ate Namutebi n'asitukira mu gya zaabu 11, kwe yagasse ehya feeza 4.

Bombi baana ba Hadija Namanda, akulira ekibiina ekitwala volleyball mu ggwanga, Uganda Volleyball Federation, nga baabadde mu mpaka z'okuwuga ezaabadde ku Kampala International School e Bukoto.

 oses wase ku ddyo omuwandiisi wekibiina ekifuga omuzannyo gwokuwuga mu ggwanga ngakwasa ttiimu ya ga han ekikopo u ddyo ye amutebi ne ukalazi abaakikiridde ritish chool of ampala eryakutte ekyokubiri Moses Mwase (ku ddyo), omuwandiisi w'ekibiina ekifuga omuzannyo gw'okuwuga mu ggwanga ng'akwasa ttiimu ya Aga Khan ekikopo Ku ddyo ye Namutebi ne Mukalazi abaakikiridde British School of Kampala eryakutte ekyokubiri.

 

Empaka zino, eza National Independence Swimming Gala, zaabadde za mulundi gwa 18, nga zaategekeddwa ekibiina ekitwala omuzannyo gw'okuwuga mu ggwanga, ekya Uganda Swimming Federation, n'ekigendererwa ky'okukuza Ameefuga ga Uganda og'omukundi ogwa 57.

Mukalazi yawangulidde mu balina emyaka 15 n'okudda waggulu, ate Namutebi mu balina emyaka 13 ne 14, wabula essomero lya Aga Khan lye lyasinze mu masomero 23 ageetabye mu mpaka zino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...