TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Magogo azzeeyo ku butaka gy'azaalibwa ne bamwaniriza n'emizira

Magogo azzeeyo ku butaka gy'azaalibwa ne bamwaniriza n'emizira

Added 14th October 2019

FIFA olwamaze okumukaliga emyezi ebiri nga teyeenyigira mu mupiira, Moses Magogo, abadde pulezindeti wa FUFA, yasibidde ku butaka mu disitilikiti y’e Buyende.

 Magogo (mu ssaati ya bulu) g’aliko byannyonnyola.

Magogo (mu ssaati ya bulu) g’aliko byannyonnyola.

Abataka ba Budiope East olwamaze okumwaniriza, Olwomukaaga n'alumalako ng'ataalaga ebyalo okuggumiza omulamwa gwe ogw'okulondoola abaana abalina ebitone naddala mu mupiira.

Mu byalo bye yalambudde mwabaddemu; Gwaase, Ngandho, Kitukiro, Bumogoli ne Irundu, n'akubiriza abazadde obutagaana baana kwenygira mu mizannyo naddala gye balinamu ttalanta, kubanga gisobola okubagasa mu biseera eby'omu maaso.

"Omwana ky'atandika nakyo ky'akula nakyo. Mubaleke boolese ttalanta ezijja okuvaamu ebirungi mu maaso, nammwe abazadde mufunemu," Magogo bwe yagambye, n'akubiriza n'abavubuka okwenyigira mu mirimu egivaamu ensimbi mu kifo ky'okwenyigira mu ludo n'amatatu.

Ekibonerezo kya Ying. Magogo kyatandise nga October 10, nga kitwaliramu n'okuwa engassi ya doola 10,000 (37,000,000/-) z'alina okusasula mu nnaku 30.

Omubaka Allan Ssewanyana (Makindye West), ye yatwala Magogo mu FIFA, ng'amulanga kutunda tikiti za World Cup mu ngeri y'amagendo, sso nga yalina kuziguza Bannayuganda ku nsimbi ensaamusaamu, basobole okunyumirwa empaka zino ezaali mu Brazil mu 2014.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....