TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutendesi wa Cranes omuggya atandise na buwanguzi

Omutendesi wa Cranes omuggya atandise na buwanguzi

Added 14th October 2019

OMUTENDESI wa Cranes omuggya, Johnathan McKinstry atandise na buwanguzi mu mupiira gwe ogusookedde ddala, bw’alumbye Ethiopia omwayo n’agikubirayo ggoolo 1-0.

Mu gw'omukwano: Ethiopia 1-0 Uganda

Uganda ebadde yasemba okuwangulira Ethiopia omwayo, mu 1983, mu gw'omukwano, nga yagikuba ggoolo ze zimu.

McKinstry 34, enzaalwa ya Northern Ireland yayanjuddwa ku nkomerero y'omwezi oguwedde ng'adda mu bigere bya Sebastien Desabre eyayabulira Cranes oluvannyuma lw'omupiira gw'oluzannya lwa ttiimu 16, Senegal mwe yawangulira Uganda ggoolo 1-0 mu mpaka za AFCON.

Omupiira gwa Ethiopia gwazannyiddwa ku Ssande, ku Bahir Dar Stadium, nga gwabadde gwa mukwano. Gwagendereddwa okuyamba omutendesi okwetegereza abazannyi be nga Uganda tennazannya gwa kusunsulamu abalizannya eza Afrika eza 2021.

Cranes yeetegekera kuzannya Burkina Faso ne Malawi wakati wa November 11 ne 19. Ggoolo ya Cranes yateebeddwa Emma Okwi, mu ddakiika eya 20.

Nga yaakaweebwa omulimu guno, McKinstry yategeeza nga bw'agenda okuzimbira ku mutindo gw'asanzeewo alabe ng'atwala Cranes mu mpaka za Afrika n'okusingawo.

Abaatandise; Denis Onyango, Ronald Mukiibi, Joseph Ochaya, Hassan Wasswa, Bevis Mugabi, Tadeo Lwanga, Emmanuel Okwi, Allan Kyambadde, Abdu Lumala, Patrick Kaddu ne Kizito Luwagga.

Abaabadde ku katebe; Robert Ondogkara, Timothy Awany, Nicholas Wadada, Isaac Muleme, Kirizestom Ntambi, Milton Karisa, Moses Opondo, Derrick Nsibambi ne Allan Kayiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...