TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Obuvune bulemesezza Mutyaba ogwa Burundi

Obuvune bulemesezza Mutyaba ogwa Burundi

Added 14th October 2019

Cranes yeetegekera kudding'ana ne Burundi mu z'okusunsulamu abalizannya CHAN omwaka ogujja e Cameroon.

 Mutyaba eyasubiddwa ogwa Burundi.

Mutyaba eyasubiddwa ogwa Burundi.

Lwamukaaga mu za CHAN

Cranes - Burundi, Lugogo 10:00

ABAWAGIZI ba Cranes, ababadde beesunga okulaba ku ssita waabwe Muzamir Mutyaba nga badding'ana ne Burundi, tebagenda kumulabako. Mutyaba yafunye obuvune.

Mu kifo kye, omutendesi Abdallah Mubiru yayitiddemu Chrizestom Ntambi owa Wakiso Giants ne Ibrahim Orit owa Mbarara City. Mutyaba y'omu ku basinga okuba n'obumanyirivu ku ttiimu eno kuba yaakazannya ez'akamalirizo emirundi ebiri.

Mubiru yagambye nti wadde abazannyi bano bagenda kubasubwa, balina abalala abalungi era abasobola okuziba ebituli byabwe.

Cranes yeetegekera kudding'ana ne Burundi mu z'okusunsulamu abalizannya CHAN omwaka ogujja e Cameroon.

"Burundi okugikuba omwayo tekigifuula nnafu kubulwako kyekola e Lugogo. Abawagizi batulinamu obwesige era tetugenda kubayiwayo," Mubiru bwe yategeezezza oluvannyuma lw'okutendekebwa eggulo e Lugogo. 

 serunkuuma ku kkono ne evita be bamu ku bali ku ttiimu ya han Sserunkuuma (ku kkono) ne Revita be bamu ku bali ku ttiimu ya Chan.

 

Mu luzannya olwasooka mu Burundi, Cranes yawangula ggoolo 3-0 nga mu nsiike y'Olwomukaaga e Lugogo yeetaaga maliri gokka, oba okugikuba ggoolo 2-0 eyitewo.

Mubiri yeegattiddwaako omuteebi Sulaiman Mutyaba, eyagambye nti bakimanyi bulungi nti omulimu tegunnaggwa kubanga ekiruubirirwa kyabwe kya kugenda mu CHAN.

"Omulimu tetunnagumaliriza,nze ne bannange tukimanyi nti enkizo y'okubeera awaka n'obuwanguzi obwasooka tulina kubizimbirako buzimbi, si kugayaala," Mutyaba, omu ku baateebera e Burundi, bwe yategeezezza. Mu gwasembye okuzannya mu ne kiraabu ye eya KCCA, yateebye ggoolo 3 nga bawuttula Onduparaka 4-0 mu liigi.

Abazannyi 23 be baatendekeddwa ku Mmande .Chrizestom Ntambi ne Allan Kayiwa abaabadde ne ttiimu enkulu eyawangudde Ethiopia 1-0 mu gw'omukwano ku Ssande, baakomyewo eggulo akawuungeezi, sso nga ensonga eyalemesezza Karim Watambala okwegatta ku banne teyategeerekese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....