TOP

Mutumbule emizannyo - Ssekandi

Added 14th October 2019

Abavubuka nga 1,000 okuva mu maggombolola ag'enjawulo e Masaka beetabye mu mizannyo egyakomekerezeddwa ku ssomero lya St. Pius Primary School e Buliro.

 Ssekandi ng'akwasa abawanguzi ekikopo.

Ssekandi ng'akwasa abawanguzi ekikopo.

OMUMYUKA wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi akubiriza abakwatibwako okwongera amaanyi mu kutumbula omuzannyo gw'okusamba omupiira gw'abawala  ogw'ebigere ng'agamba nti gwongedde okukwata akati ennaku zino ng'ogw'abasajja.

Ssekandi yawadde eky'okulabirako nti ky'ekiseera okutandikawo ‘akademe' ezitendeka abawala abato okusamba omupiira kyongere  mu kunoonya ebitone mu ggwanga.

Bino yabyogeredde mu kuggulawo empaka z'emizannyo gy'abavubuka mu Bukoto Central e Masaka egya ‘Edward Kiwanuka Youth Sports Tournament'.

Abavubuka nga 1,000 okuva mu maggombolola  Kyesiiga, Kabonera ne Kyananamukaaka e Masaka  beetabye mu mizannyo egyakomekerezeddwa ku ssomero lya St. Pius Primary School e Buliro mu ggombolola y'e Kyesiiga.

Empaka zino zaabaddemu abavubuka abalenzi n'awala okusamba omupiira, okubaka,okuvuga obugaali n'emirala. Era abawanguzi mu mupiira baafunye ekirabo kya 500,000/- emijjoozi, emipiira esatu  n'emidaali.Abawangudde okubaka  bafunye 400,000/-, ate eyawangudde empaka z'obuggaali n'afuna 300,000/-

SSekandi yagambye  nti omupiira gw'ebigere gwe gumu ku mizannyo egisinga okulabwa abantu mu Uganda era abawala abagusamba tebasaanye kulekebwa mabega.

Yebazizza akulira kkampuni ya ‘ Xabo Group of Companies, Dr. David Alobo,  olw'obuyambi bwe yawaddeyo mu kutegeka empaka ezo ezakung'anyzizza abavubuka okuva mu bitundu  by'e Bukoto.

Ssekandi yagambye nti ebyemizannyo bikola kinene mu kukuuma abantu nga balamu bulungi mu mibiri kuba bibagobako endwadde . N'agamba nti ng'ogyeko ekyo ebyemizannyo era bireeta ensimbi nga kati bisinga n'emirimu gy'abasiba amataayi  kwe kutemya ku bantu okutandikawo ‘akademe' z'okutendeka abawala okusamba omupiira kuba n'ogwabwe gutandise okujjumbirwa.          

Dr. David Alobo  yagambye nti musanyufu olw'abavubuka okwenyigira mu mizannyo gino nga bayitira mu kibiina kya ‘Bukoto Central Youth Link' era n'asiima Ssekandi  olw'okuyamba b'e Bukoto okutumbula ebyenfuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...