
Halima Nakaayi ng'ajaganya
Bannamawulire abawandiika ag'emizannyo mu kibiina kya Uganda Sports Press Association (USPA), bassizza kimu ne balonda omuddusi Halima Nakaayi ku buzannyi bwa September. Nakaayi yasiimiddwa okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu misinde gy'ensi yonna egya World Championships mu mmita 800. Emisinde gyabadde mu kibuga Doha, e Qatar.
Bino bibadde mu lutuula lwa Nile Special -USPA olwa buli mwezi ku wooteeri ya Imperial Royale.
Nakaayi yavugannyizza n'abazannyi abalala abaakoze obulungi okuli; omuwuzi Kirabo Namutebi eyawangudde zaabu mu mpaka za Africa Junior Championships mu Algeria, ttiimu y'eggwanga ey'abawala ey'omupiira eyawangudde COSAFA U-17, n'abalala.
Abalala kuliko;omuzannyi wa golf, Peace Kabaswala eyawangudde empaka za Tanzania Ladies Open, Martha Babirye eyawangudde golf wa Uganda Ladies Open, wamu n'omuggunzi w'eng'uumi Abdu Sebute eyawangudde omusipi gwa East and Central Africa ogwa mu buzito bwa Super Fly.