TOP

Abembogo beekulisizza okuwangula Engabo

Added 15th October 2019

Omutaka Kayiira Gajuule asabye bannabyamizannyo okukuuma omutindo n'empisa basobole okugenda mu maaso

 Omutaka Kayiira Gajuule ne bazzukulu b'Embogo

Omutaka Kayiira Gajuule ne bazzukulu b'Embogo

Bya LYDIA NAKIGULI

OMUTAKA Kayiira Gajuule, akulira Ekika ky'Embogo, akubirizza abazannyi be okukuuma omutindo n'empisa basobole okweddiza Engabo y'empaka z'Abaganda omwaka ogujja.

Yagambye nti Ekika ky'Embogo tekikoma kubeera na ttalanta mu mupiira mwokka wabula ne mu mizannyo emirala, n'awa eky'okulabirako kya Halima Nakaayi eyawangulidde Uganda zaabu mu mpaka z'ensi yonna ne Fortune Sentamu eyawangula eza ddigi mu bato.

"Omuzannyi yenna okusigala ng'ovuganya olina okukuuma omutindo n'empisa," Kayiira bwe yakuutidde abazannyi, ku kabaga bazukkulu b'Embogo ke baategse okuyozaayoza ttiimu y'omupiira okusitukira Ngabo y'Ebika. Baabadde ku Explorer Ranch e Bweranyange mu Wakiso.

Embogo yawangula Ekkobe ggoolo 1-0 ku fayinolo eyali  Masaka Recreation Grounds nga August 31, era nga bakulembeddwamu omutendesi Ibrahim Kiirya, abazannyi Engabo baajanjulidde Omutaka Kayiira ku kabaga kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...