TOP

Nakaayi awangudde eky'omuzannyi wa September

Added 16th October 2019

EKIBIINA ekigatta bannamawulire abawaandiika ag’ebyemizannyo ekya Uganda Sports Press Association (USPA) kironze omuddusi wa Uganda, Halima Nakaayi, okuba munnabyamizannyo asinze banne mu mwezi gwa September 2019.

Nakaayi

Nakaayi

Bya Musasi waffe 

EKIBIINA  ekigatta bannamawulire abawaandiika ag'ebyemizannyo ekya Uganda Sports Press Association (USPA) kironze omuddusi wa Uganda, Halima Nakaayi, okuba munnabyamizannyo asinze banne mu mwezi gwa September 2019.

Nakaayi yawangulidde Uganda omudaali gwa zaabu mu misinde gy'abakazi egya mmita 800 mu misinde gy'ensi yonna egyayindidde e Doha mu Qatar.

 

Bannamawulire abaatudde mu Imperial Royal Hotel mu Kampala be balonze Nakaayi.

Abalala abaavuganyizza ku kifo kino kwabaddeko Kirabo Namutebi eyawangula emidaali gya zaabu ebiri mu misinde gy'Afrika egy'abato e Tunisa, ttiimu ya Uganda ey'omupiira gw'ebigere ey'abawala abali wansi w'emyaka 17 eyangudde ekikopo mu mpaka za COSAFA e Mauritius ne Peace Abasweka omuzannyi wa Golf omukazi eyawangudde empaka ezabadde e Tanzania.

 

Pulezidenti wa USPA, Patrick Kanyomozi yasiimye Nakaayi olw'obuwanguzi n'agamba nti ajja kufuba okulaba ng'amuyamba okuwangula emidaali emirala.

Bannamawulire baakubanyizza ebirowoozo ku ngeri y'okuzzaawo SACCO yaabwe  nga bayingiza bammemba abalala. Era eyali Pulezidenti waabwe Sabiiti Muwanga n'abakutuukira okweyisa mu ngeri eweesa ekibiina n'omulimu guno ekitiibwa.

 

Nakaayi awangulidde Uganda zaabu e Doha

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...