TOP

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda mu ntebe - Muwema

Added 17th October 2019

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda ttikiti za World Cup mu magendo mitono nnyo.

 Ying. Moses Magogo (ku kkono) ne pulezidenti wa FIFA, Gianni Infantino nga basisinkanye gye buvuddeko.

Ying. Moses Magogo (ku kkono) ne pulezidenti wa FIFA, Gianni Infantino nga basisinkanye gye buvuddeko.

Bya HUSSEIN BUKENYA
 
MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda ttikiti za World Cup mu magendo mitono nnyo.
 
Magogo, akulira FUFA, yagaaniddwa okwenyigira mu nsonga z'omupiira okumala emyezi ebiri era n'atanzibwa doola 10,000 (eza Uganda obukadde 37) olw'okukkiriza bwe yatunda ttikiti za World Cup ya 2014 mu mankwetu. Omubaka Allan Sewanyana, (Makindye West) ye yaloopa Magogo.
 
Muwema, eyaliko pulezidenti wa Villa ate nga y'omu ku baali mu kabiina ka SOS akaagoba omugenzi Denis Obua ku bwapulezidenti wa FUFA, yannyonnyodde nti FIFA yakutte bubi ensonga za Magogo ng'ekitono ennyo waakiri yandisibiddwa emyaka ebiri.
 
 uwema Muwema

 

Mu kiwandiiko kye yafulumizza eggulo, Muwema yagambye nti FIFA esaanidde okuggulawo ffayiro y'omusango gwa Magogo, eyite n'abawaabi bawe obujulizi mu kyama nga bwe kiri mu kitundu nnamba 42 (2) mu mateeka gaayo.
 
"Omusango bwe guddamu, Magogo aba avunaanibwa obulyake n'aweebuula ofiisi ya pulezidenti wa FUFA," Muwema bwe yakkaatirizza.
 
FIFA YE BULI KIMU
Muwema era yagambye nti kikyamu FIFA okuba nga ye yalooperwa, y'enoonyerezza, y'evuunaana ate nga ye mulamuzi.
 
Yanokoddeyo etteeka lya FIFA eddala nnamba 27 (1), erigamba nti, "Okuwa, okufuna, okusaba ssente oba ekintu ekirala kyonna okuva ku muntu ow'ebweru oba munda mu FIFA, mu ngeri ey'amankwetu tekikkirizibwa."
 
"Oba nga Magogo yennyini yakkirizza nti yeenyigira mu buli bw'enguzi ng'atunda ttikiti za World Cup, kikyamu akakiiko ka FIFA akaabuuliriza ku nsonga ze okusalawo ekibonerezo. Ekisingako, ye FIFA okuttukiza omusango, egwetegereze bulungi ng'ewadde n'abawaabi omukisa okuwulirizibwa," bwe yategeezezza.
 
KKOOTI ZISOBOLA OKUMUVUBAANA
Muwema alabula nti ssinga FIFA eremwa okuddamu okutunula mu musango gwa Magogo, nayo yennyini esobola okuvunaanibwa omusango gw'okwekkiriranya nomuli w'enguzi sso nga ne kkooti za Uganda zirina obuyinza okuwulira emisango egizziddwa munnansi oba omugwira mu Uganda oba ebweru waayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...