TOP

Ssimwogerere ataanziddwa emitwalo 50

Added 17th October 2019

Guno mulundi gwakubiri nga Express ekaligibwa olw'okulagira ba bbooloboyi okugya emipiira ku kisaawe.

 Ssimwogerere ng'awa abazannyi obukodyo.

Ssimwogerere ng'awa abazannyi obukodyo.

AKAKIIKO ka FUFA akakwasisa empisa aka ‘FUFA Disciplinary Panal' (CDP) katanzizza omutendesi wa Express, George Ssimwogerere 500,000/-, lwa kulagira abaana abawereza emipiira okugigya ku kisaawe.

Abakungu ku kakiiko kano bagamba nti, nga October 4, 2019 mu mupiira Express mwe yawutulira Police FC ku kisaawe e Wankulukuku ggoolo 5-3, omupiira bwe gwatuuka mu ddakiika 58 Ssimwogerere yalagira babooloboyi okutandika okukweka emipiira nga bwe batwaliriza ku budde.

simwogerere ngawa abazannyi obukodyoSsimwogerere ng'awa abazannyi obukodyo.

 

Ssimwogerere oluvannyuma lw'ekibonerezo ekyamuwereddwa, yalabuddwa obutaddamu kikolwa kino nga singa anaakikola, waakugobwa ku ntebe y'obutendesi omupiira atandike kugulabira mu bawagizi.

Guno mulundi gwakubiri nga ttiimu ekaligibwa ng'ogwasooka baali battunka ne Mbarara City mu sizoni ya 2017/18 ne balagirwa okusasula 1,000,000/- wadde ng'omupiira baguwangulira ku ggoolo 1-0. Mu kiseera kino Express ekwata kifo kya 11 n'obubonero 10.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...