
Muhangi (ku ddyo) ne Dr. Karusa
Bya FRED KISEKKA
EKIBIINA ekiddukannya ebikonde mu ggwanga, Uganda Boxing Federation (UBF), kiyisizza ekiteeso okutayirira buli mugunzi wa ng'uumi, kyongera okukendeeza ku bulwadde bwa siriimu.
Kiddiridde ekibiina kya UNAIDS ekirwanyisa obulwadde bwa siriimu mu ggwanga, okufulumya lipooti ng'eraga nti ku bakubi b'ebikonde 1500 be kyakebeera wakati wa January ne July, 11 baasangibwa n'akawuka ka siriimu.
Lipooti eno yayanjuddwa Dr Karusa Kiragu, akulira UNAIDS mu ggwanga, ku mukolo gw'okutongoza kampeyini ya ‘Box HIV out of Uganda', sizoni eyookubiri.
Moses Muhangi, pulezidenti wa UBF, yategezezza nti abazannyi abaasangiddwa n'akawuka ka siriimu si baakuddamu kukkirizibwa kuzanya bikonde, ng'amateeka ga AIBA, ekibiina ekitwala omuzanyo guno mu nsi yonna, bwe galagira.
"Tuyisizza n'ekiteeso nti teri muzannyi wa bikonde gwe tugenda kukkiriza kuzannya mu mpaka eziri ku kalenda ya UBF nga si mutayirire" Muhangi bwe yagambye.