TOP

She Cranes egoba kyakusatu

By

Added 21st October 2019

Uganda okulemererwa okweddiza ekikopo kino kye babadde baakawangula emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa, n’okulemwa ekifo ekyokubiri, ewadde Malawi enkizo okudda mu kyokubiri mw’ebadde (Uganda) mu Afrika yonna. Malawi ebeera yeddiza ekifo ekyomukaaga Uganda mw’ebadde mu nsi yonna.

 Stella Oyella owa She Cranes (ku ddyo) ng'alwanira omupiira n'omuzannyi wa Zimbabwe mu mpaka za African Netball Championship omwaka oguwedde.

Stella Oyella owa She Cranes (ku ddyo) ng'alwanira omupiira n'omuzannyi wa Zimbabwe mu mpaka za African Netball Championship omwaka oguwedde.

African Netball Championship

Uganda 45-49 Malawi

Enkya ssaawa 8:30 ez'olweggulo

Uganda - Kenya

TTIIMU y'eggwanga ey'okubaka, She Cranes ekifo ekyokubiri kigiremye mu mpaka za ‘African Netball Championship' bwe yakubiddwa Malawi obugoba 49-45.

Uganda yagenze okuzannya ne Malawi ng'eyagala buwanguzi okutangaaza emikisa gy'okumalira mu kifo ekyokubiri. Okukubwa Malawi kitegeeza kati erina kulwana kumalira mu kyakusatu.

Enkya (Lwakubiri) ezannya Kenya mu luzannya lwa ttiimu zombi olusembayo mu mpaka zino, wabula Uganda erina okuteeba ggoolo eziwera okwetakkuluza ku Zimbabwe bwe benkanya obubonero (6).

Uganda okulemererwa okweddiza ekikopo kino kye babadde baakawangula emirundi ebiri egy'omuddiring'anwa, n'okulemwa ekifo ekyokubiri, ewadde Malawi enkizo okudda mu kyokubiri mw'ebadde (Uganda) mu Afrika yonna. Malawi ebeera yeddiza ekifo ekyomukaaga Uganda mw'ebadde mu nsi yonna.

Okusinziira ku nsengeka z'ensi yonna South Afrika y'ekulembedde ng'eddiriddwa Uganda, Malawi ne Zimbabwe mu kyokuna. Enzannya za Uganda ezaasoose, yawangudde Zambia (67-33), Lesotho (98-24). Yafuna n'obubonero 2 ne ggoolo 60 oluvannyuma lwa Zimbabwe okutuuka ekikeerezi.

Rashid Mubiru atendeka She Cranes agamba nti ttiimu gye yatutte ebadde ya baana bato era bakoze bulungi okusinziira ku njawulo ya ggoolo gye baataddewo.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...