TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutendesi wa Cranes amaliridde okukola ebyafaayo

Omutendesi wa Cranes amaliridde okukola ebyafaayo

Added 22nd October 2019

Omutendesi wa Cranes omuggya asabye FUFA okumuwa ebyetaagisa atuuse ttiimu mu nsi ensuubize

 Allan Okello (ku kkono) ng'ayita ku muzannyi wa Burundi

Allan Okello (ku kkono) ng'ayita ku muzannyi wa Burundi

OMUTENDESI wa Cranes,  Johnathan Mckinstry,  atenderezza omuntindo gw'abazannyi ba ttiimu ya CHAN,  n'asaba FUFA emukolerere entegekka ennungi, asobole okuggya ku Uganda ekikwa ky'obutava mu kibinja.

Ku Lwomukaaga, Uganda yayiseemu okuzannya ez'akamalirizo eza CHAN omwaka ogujja, era Mckinstry agambye nti ku bulungi bw'abazannyi ba Cranes asobola okugituusa ku fayinolo n'ewangula n'ekikopo.

Mckinstry eyalangirirwa ku butendeis bwa Cranes ku ntandikwa y'omwezi guno, yasalawo omumyukawe, Abdallah Mubiru asigale mu mitambo gya ttiimu  ya CHAN agimazeeko egy'okusunsulamu,  era ye omupiira guno, Cranes mwe tawuttulidde Burundi ggoolo 3-0, yagulabidde mu bawagizi. McKinstry oluvannyuma yagenze mu busenge bw'abazannyi okubayozaayoza.

 bdallah ubiru ku kkono ngalina byannyonnyola cinstry Abdallah Mubiru (ku kkono) ng'alina byannyonnyola McKinstry

 

" Ku bazannyi abalungi bwe bati bwe ngattako enteekateeka ennungi, siraba nsonga etulemesa kutuuka ku fayinolo," Mckinstry bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti amangu ddala agenda kutuula ne Mubiru bakole pulaani gye bagenda okugoberera.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...