TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Vipers ewangudde n'erinnya ku ntikko ya liigi

Vipers ewangudde n'erinnya ku ntikko ya liigi

Added 22nd October 2019

Obuwanguzi Vipers bw'efunye ku BUL, bugiyambye okulinnya ku ntikko ya liigi ya Uganda.

 Frank Tumwesigye owa Vipers (ku kkono) ng'attunka ne Charles Sebutinde owa BUL mu gwa liigi e Kitende.

Frank Tumwesigye owa Vipers (ku kkono) ng'attunka ne Charles Sebutinde owa BUL mu gwa liigi e Kitende.

AKAWUNGEEZI ka leero ku Lwokubiri, Vipers ekubye BUL ggoolo 2-1 n'erinnya ku ntikko ya liigi ya Uganda eya StarTimes Uganda Premier League. Frank Tumwesige ‘Zaga'  ne Allan Kayiwa be baateebedde Vipers mu kitundu ekisooka ate Deogracious Ojok n'ateebera BUL. 

Mu mipiira emirala, omuzibizi wa KCCA FC, Mustafa Kizza ye yabadde omuzira wa ttiimu eno bw'agikubidde ggoolo egitakuluzza ku Maroons ebadde egifuukidde ekyambika.  Ggoolo ya Mustafa yazze mu ddakiika ya  90 ng'ayita mu kusimula peneti nga n'abawagizi ba ttiimu eno abamu batandise okufuluma ekisaawe mu busungu.


Omupiira gubadde mu kisaawe ky'amakomera e Luzira, KCCA mwe yasoosekodde  okulya empanga ng'eyita mu Mike Mutyaba mu ddakiika ya 42. Gwegenze mu kuwummula nga KCCA ekyagukulembedde era bwe bakomyeyo Mutebi n'akizuula nga yeetaaga okwongera okunyweza amakkati n'aggyayo Kizito Keziron eyabadde agenda ennyo mu maaso n'ayingiza Nicholas Kasozi okumugatta ku Gift Ali basobole okutangira obulungi abawuwuttanyi ba Maroons.


Mu ddakkika ya 55, Mutebi era yalabye bigaanyi kwe kusalawo okuggyayo Simon Sserunkuuma okumusikiza Erisa Sekisambu ayongera ku Sadati Anaku mu kulumba. Akakodyo kano, Mutebi tekasoose kumukolera kuba nga yaakayingiza Ssekisambu ate Solomon Walusimbi yakubidde Maroons ggoolo eyasirisizza abawagizi ba KCCA buli omu n'akwata ku mutwe. Wabula gwawedde ggoolo 3-1 nga KCCA ewangudde.
 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...