TOP

Atendeka ey'okubaka mumativu

By

Added 22nd October 2019

She Cranes eri mu mpaka za Afrika e South Afrika era ebadde ekolerera waakiri emalire mu kifo ekyokusatu.

 Jesca Achan owa She Cranes

Jesca Achan owa She Cranes

OMUTENDESI wa ttiimu y'eggwanga ey'okubaka eya She Cranes, Rashid Mubiru atenderezza abawala be yatutte mu mpaka z'okubaka eza 'African Netball Championship, olw'omutindo omulungi gwe boolesezza. Leero ku Lwokubiri, baakubye Kenya.

She Cranes yasitula ku Mmande ya wiiki ewedde okugenda mu Cape Town ekya South Africa empaka zino gye zibadde, ng'ekigendererwa kyali kya kweddiza kikopo kino omulundi ogwokusatu ogw'omuddiring'anwa wabula yamalidde mu kifo kyakusatu n'obubonero 8 mu nzannya mukaaga.

Mubiru agamba nti ttiimu gye yatutte ebadde y'abaana bato era bakoze bulungi okusinziira ku njawulo ya ggoolo gye baataddewo nga bazannya ensi nga South Afrika ne Malawi ezibadde ezisinga amaanyi.

"Mu World Cup e Bungereza, South Afrika yatukuba 67-40, Malawi yatukuba 55-44, omulundi guno tetubadde na bassiniya baffe naye batukubye n'enjawulo ntono ddala, nzikiriza eno ttiimu ekoze bulungi, era tugenda kwongera egizimba mujja kugiwulira," Mubiru bwe yategeezezza.

 mutendesi ubiru ngawa abazannyi ebiragiro Omutendesi Mubiru ng'awa abazannyi ebiragiro

 

Enzannya za Uganda, yawangudde Zambia (67-33), Lesotho (98-24), Kenya (61-42) ate n'efuna n'obubonero 2 wamu n'eggoolo 60 oluvannyuma lwa Zimbabwe gye yali erina okuzannya nayo ku lunaku olusooka okutuuka ekikeerezi ng'obudde bw'okwezannya buyiseeko.

South Afrika ye yatutte ekikopo kino omulundi gwayo ogusoose bwe yakung'anyizza obubonero 12 mu nzannya 6 ate Malawi yakutte kyakubiri (10).

Bya Gerald Kikulwe

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...