TOP

Cranes yaakutambulira mu Bombardier

Added 23rd October 2019

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso mu mpaka ezisunsula abalizannya eza Afrika.

Okuva ku kkono ye mumyuka wa pulezidenti Darias Kigoye, omutendesi John Mckinstry, akola nga pulezidenti JUstus Mugisha ne Decolas Kiiza omukwanaganya wa Cranes.

Okuva ku kkono ye mumyuka wa pulezidenti Darias Kigoye, omutendesi John Mckinstry, akola nga pulezidenti JUstus Mugisha ne Decolas Kiiza omukwanaganya wa Cranes.

FUFA epangisizza ennyonyi ya Uganda Airlines empya (Bombardier) okutwala ttiimu ya Cranes e Burkina Faso basambe omupiira ogusooka ogw'okusunsula abanaasamba ez'akamalirizo eza AFCON Cameroon 2019.

Yaakubalinda n'okubazza basobole ate okwetegekera ogwa Malawi oluvannyuma lw'ennaku ssatu zokka mu kampenyi y'emu.

Entegeka zino zanjuliddwa Mengo ku kitebe kya FUFA bwe babadde batongoza kampeyini eno okusobozesa Uganda okuddayo mu African Cup of Nations omulundi ogwokusatu ogw'omuddiring'anwa nga zirangiriddwa akola nga pulezidenti wa FUFA, Justus Mugisha abadde n'omutendesi John Mckinstry, omukwanaganya wa Cranes Decolas Kiiza ne Darias Mugoye omumyuka wa pulezidenti wa FUFA (asooka kati).

Bano balangiridde nti FUFA etaddewo ebifo 30 ku Bombardier eby'abawagizi abanaagenda ne Cranes e Burkina Faso nga baakusasula doola 1500 batambule ne Cranes wamu n'okusula ku wooteeri y'emu era ne tikiti okuyingira ekisaawe.

"Tusazeewo okupangisa ennyonyi kubanga olunaamala okusamba Burkina Faso nga November 13 tujja ate kusamba Malawi nga November 17 ekitegeeza tulina okudda e Kampala nga bukyali," Mugisha bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...

Dorothy Nambi ng’ayigiriza omwana alina obukosefu okulabirira ennimiro.

Kw'olabira omwana alina obu...

Alwawo okwogera. Tasobola kuyiga bintu bya bulijjo ng’okuseka, okuba n’emikwano. lAtya nnyo naddala abantu abatali...