TOP

Mutebi tatidde y'e Algeria

Added 25th October 2019

KCCA FC egenda kwambalagana ne Paradou AC ey'e Angola. Omutendesi ayogedde lwaki tabatidde.

Mutebi ng'awa abazannyi ebiragiro mu kutendekebwa.

Mutebi ng'awa abazannyi ebiragiro mu kutendekebwa.

Ssande mu CAF Confederations Cup

KCCA-Paradou AC, e Lugogo

Mugw'omukwano

KCCA 2-0 Katwe United

OMUTENDESI wa KCCA Mike Mutebi agumizza abawagizi nti bagenda kuzannya mupiira gwa kulumba ttiimu ye esobole okuwangula omupiira ogusooka etangaze emikisa gy'okwesogga ebibinja mu mpaka za CAF Confederations Cup.

 bazannyi ba  mu kutendekebwa Abazannyi ba KCCA mu kutendekebwa.

 

Bino abyogeredde mu lukung'ana lwa bannamawulire ku kisaawe e Lugogo. Agambye nti teri ttiimu ejja ku mawanga nga nnyangu era tusobola okuvuganya obulungi n'abazannyi ba Paradou AC.

"Paradou ky'etusingako bwe bumanyirivu mu mpaka zino n'abazannyi ababadde awamu okumala ebbanga. Wabula twetegese bulungi okufuna," Mutebi bwe yagambye.

 ike utebi Mike Mutebi.

 

Mu ngeri y'emu, kapiteni wa KCCA, Charles Lukwago asabye abawagizi okujja mu bungi babasobozese okumegga Paradou nga basinziira ku nduulu.

KCCA yasoose kuzannya mupiira gwa kwegezaamu n'emegga Katwe United eya Big League ku ggoolo 2-0 ezaateebeddwa Muzamiru Mutyaba ne Egbuonu Odumegwu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...