
Abawagizi ba Busiro lwe baakuba Buddu ku semi.
Lwamukaaga mu Masaza Cup;
Ogwekyokusatu; Buddu - Kyaddondo, 5:00
Fayinolo; Bulemeezi - Busiro, 9:00
Ssaabasajja yasiimye okuggalawo empaka zino nga waakusookawo omupiira gw'okulwanira ekyokusatu.
Guno guli wakati wa batabani ba Pookino (Buddu) n'aba Kaggo (Kyaddondo).
Fayinolo eno ya mulundi gwakutaano ogw'omuddirihhanwa mu kisaawe ky'e Namboole.
Ttiimu zombi ziweze masajja okusitukira mu kikopo nga buli emu egamba nti Kabaka gy'ajja okukwasa ekikopo.

Omuwanguzi waakuddayo ne kavvu wa bukadde 12, owookubiri (9,000,000/-), owookusatu (7,000,000/-) ate owookuna 5,000,000/-.
BULEMEEZI
Abantu abazaalibwa mu ssaza lino bayitibwa 'Balyannaka'.
Essaza lirimu amagombolola 15 n'ebibuga ebiwerako omuli; Bombo, Wobulenzi, Ngoma, Kasana, Luweero, Ssemuto, Kapeeka, Nakaseke n'obulala.

Ttiimu yaabwe etendekebwa Simon Mugerwa ng'ayambibwako Yusuf Kinene ate abakungu kuliko; Sulait Makumbi, Juma Kasolo ne Andrew Walakira. Ku Semi, baakuba Kyaddondo ku mugatte gwa ggoolo 2-1.
AMAANYI GAAYO
1 Obumanyirivu bw'omutendesi; Mugerwa y'amyuka omutendesi wa Bright Stars, evuganya mu liigi ya babinywera ne Buddo SS.
Buddu okuwangula ekikopo ky'Amasaza mu 2016, Mugerwa ye yali amyuka omutendesi Steven Bogere. Ku fayinolo ya 2015 ne sizoni ewedde, ye yali mu mitambo gya Buddu.
2 Akakiiko k'ebyekikugu; Kano kaliko maneja SulaitMakumbi aludde ng'ali ne ku ttiimu z'eggwanga ento, SC Villa ne Nyamityobora. Omulala, Juma Kasolo y'akulira omupiira e Kawempe, Andrew Walakira, agukulira e Luweero ate Yusuf Kinene yazannyirako ttiimu nnyingi eza Super n'aziwangulira ebikopo.
3 Yakiwangulako; Bulemeezi emanyi obuwoomi bw'ekikopo kuba yakitwala mu 2012. Kino kiwa abazannyi baayo obuvumu n'obutaba na kiwuggwe kuba baakitwalako okusinga Busiro etekitwalangako.
4 Ssente weeziri; Bulemeezi evujjirirwa Gen. Salim Saleh owa Namunkekeera Industrial Park, ne Rosemary Namayanja (omuwanika wa NRM), Charles Nsereko owa Kande Poultry Farm n'abalala.
Bano bazze bawa ttiimu eno ebyetaago era tejula.
OBUNAFU
Terina bassita; Ttiimu eno efumbekeddemu bamusaayimuto okuva mu ssomero lya Buddo SS ne liigi z'ebibinja bya wansi ekiyinza okubafunyisa okutya nga basambira mu maaso g'abantu abangi e Namboole.
BUSIRO
Lino ly'Essaza erisingamu amasiro ga Bassekabaka ba Buganda.
Lirimu amagombolola 10 ng'obubuga obusinga okumanyibwa ye; Nsangi, Kyengera, Kajjansi, Kakiri, Wakiso, Ntebe, Abayitaababiri

AMAANYI GAAYO
1 Erina bassita; Erina abazannyira mu kiraabu za 'Super' okuli Mickdad Ssenyonga ne Ivan Serubiri (URA) ssaako Andrew Kigozi (Police) ng'ono yayitiddwaako ne mu Cranes ya CHAN.
2 Obumanyirivu mu Masaza; Busiro esinga Bulemeezi abazannyi fayinolo y'Amasaza abaludde mu mpaka zino okuli; Adad Mutumba, Ssenyonga ne Sserubiri. Bano baatuusa Buddu ku fayinolo y'omwaka oguwedde.
3 Omuteebi ow'entomo; Gerald Ogweti y'omu ku basinga ggoolo mu mpaka zino (5). Mu gy'okwegezaamu, ateebye 5 nga bakutte Kasanje FC, Masuuliita ne Ntebe.
4 Bajooga Bulemeezi; Omwogezi wa ttiimu ya Busiro, Sinan Waiswa yagambye nti Bulemeezi tebakubangako wadde mu mipiira egy'omukwano.
Baasisinkana mu 2017 e Ssentema Busiro newangula 3-0 ate bwe baddihhana e Kasana baalemagana 1-1. N'omwaka guno baalemagana 0-0 mu gwomukwano.
OBUNAFU
Tewangulanga ku kikopo Guno gwe mulundi ogusoose Busiro okutuuka ku fayinolo ekiyinza okubassaamu ekiwuggwe.
Abazannyi ba liigi Waliwo abagamba nti abazannyi ba 'Super' bazannya beesaasira olw'okutya okufuna obuvune.