TOP
  • Home
  • Mupiira
  • FUFA ereese Ayub Khalifa ayambe ku Bulega okuleeta ekya CECAFA

FUFA ereese Ayub Khalifa ayambe ku Bulega okuleeta ekya CECAFA

Added 28th October 2019

FUFA ereese omutendesi wa Kawempe Muslim, Ayub Khalifa Kiyingi ayambe ku Farida Bulega atendeka Crested Cranes okuleeta ekikopo kya CECAFA.

 Ttiimu ya Crested Cranes eyatandise omupiira gwa Ethiopia ku Lwomukaaga e Lugogo nekubwa ggoolo 1-0 okuwanduka mu z'okusunsulamu z'emizannyo gya Olympics ku mugatte gwa ggoolo 4-2.  Abakutamye mu maaso okuva ku kkono; Tracy Jones Akiror, Fazila Ikwaput, Resty Nanziri, Fauzia Najjemba, ne Aisha Namukisa. Abayimiridde emabega okuva ku kkono; Ruth aturo, Hasifa Nassuuna, Grace Aluka, Yudaya Nakayenze, Shadia Nankya ne Vila Namuddu. (STEPHEN MAYAMBA)

Ttiimu ya Crested Cranes eyatandise omupiira gwa Ethiopia ku Lwomukaaga e Lugogo nekubwa ggoolo 1-0 okuwanduka mu z'okusunsulamu z'emizannyo gya Olympics ku mugatte gwa ggoolo 4-2. Abakutamye mu maaso okuva ku kkono; Tracy Jones Akiror, Fazila Ikwaput, Resty Nanziri, Fauzia Najjemba, ne Aisha Namukisa. Abayimiridde emabega okuva ku kkono; Ruth aturo, Hasifa Nassuuna, Grace Aluka, Yudaya Nakayenze, Shadia Nankya ne Vila Namuddu. (STEPHEN MAYAMBA)

Obumanyirivu bwa Khalifa atendeka ne Kawempe Muslim mu liigi y'eggwanga ey'omupiira gw'abakazi eya FUFA Women Super League mu  kisuubirwa nti bujja kuyamba Uganda okusittukira mu kikopo ekize nga kiyita Uganda mu ngalo nakyo bakireeta. 

Omwezi oguwedde Khalifa yaddumiidde ttiimu y'eggwanga eyabali wansi w'emyaka 17 okuwangula empaka za COSAFA U1 7 ezaabadde e Mauritius Uganda ze yeetabamu nga ttiimu engenyi wabula n'eziwangula

Empaka z'omupiira gw'abakazi mu mawanga g'obuvanjuba n'amasekkati ga Africa eza CECAFA Women Championships 2019 zisuubirwa okutandika nga November 14 e Dar es Salaam ekya Tanzania era okusinziira ku bibinja ebyafulumiziddwa Uganda yatereddwa kibinja B ne Djibouti, Kenya ne Ethiopia agamaze ebbanga nga galabya Uganda ennaku.

 

Omwaka oguwedde mu mpaka ezali e Rwanda,  Tanzania yasoona Uganda n'egitwalako ekikopo ku njawulo ya mugatte gwa ggoolo oluvanyuma lw'okwenkanya obubonero, musanvu.

Abategesi aba Tanzania abawangudde empaka zino enfunda ebbiri ezisembyeyo (mu 2016 ne 2018) bali mu kibinja ne Zanzibar,  South Sudan ne Burund.

Amawanga 8 ge gakakkasiza okwetaba mu mpaka z'omwaka guno. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...