TOP

Wakiso ewera kumegga Police mu liigi

Added 28th October 2019

Abazannyi n'abatendesi ba kiraabu za Uganda enkya baakusabuukulula obukodyo bwe bafunye mu luwummula nga batuunka mu mipiira gya liigi.

 Abazannyi ba Police mukutendekebwa.

Abazannyi ba Police mukutendekebwa.

BUL-Bright Stars 10:30

Express-Busoga United 10:30

Police-Wakiso Giants 10:30

SC Villa-URA 10:30

ENKYA abawagizi ba liigi ya Uganda bakuddamu okulaba ku ttiimu zaabwe ez'enjawulo nga zabika ebifuba n'okulwanira obubonero mu liigi ya Uganda Premier League.

Police FC etendekebwa Abdallah Mubiru ekyaza batabani ba Kefa Kisaala aba Wakiso Giants e Lugogo mu mupiira ogwa vvawo mpitewo kuba guno gwe guzza Mubiru engulu.

Bukya sizoni eno etandika mu September w'omwaka guno, Mubiru yaakawangulayo omupiira gumu gwokka ogwa Kyetume FC e Namboole ng'amaze emipiira esatu (3) egy'omuddirig'ana nga tawangula okubadde (Busoga United 2-1, Vipers 3-1 ne Express 5-3).

Wabula Kefa Kisaala atendeka Wakiso Giants awera kusuuza Mubiru mupiira gwakuna kuba ekirubirirwa kye ky'akumalira mu bana basooka sizoni eno.

"Police ttiimu nnungi era tetugenda kugyigaya wabula okuwumula kwa liigi kutuyambye okwetegeka ekimala n'abazannyi ababadde abalwadde okudda mu kutendekebwa," Kisaala bwe yagambye.

Wakiso Giants mupiira ogwasemba yamegga Proline (2-1) e Wankulukuku ate Police yakubwa Busoga United (2-1) e Jinja nga be bamu ku bakwebedde mu liigi.

Mu ngeri y'emu Sam Simbwa ali ku puleesa yakuwangula mupiira gwakusatu sizoni eno. Yasemba kumegga Onduparaka (2-1) mu Arua. Bakyalira SC Villa eri mu kyokusatu n'obubonero 16 mu mipiira 9.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.