TOP
  • Home
  • Mupiira
  • BUL FC eyagala kwesasuliza ku Bright Stars

BUL FC eyagala kwesasuliza ku Bright Stars

Added 29th October 2019

BUL FC eyaakakubwa Vipers ggoolo 2-1, obusungu eyagala kubumalira ku Bright Stars eddeyo ku ntikko ya liigi

 Abazannyi ba BUL FC mu kutendekebwa

Abazannyi ba BUL FC mu kutendekebwa

Bya BRUNO MUGOODA

Lwakubiri mu liigi

BUL FC-Bright Stars

Oluvannyuma lw'okukubwa Vipers FC mu gusembyeyo mu  liigi , omutendesi wa BUL FC, Peter Onen aduumidde ttiimu ye okwesasuliza ku Bright Stars gye battunka nayo leero (Lwakubiri) mu StarTimes Uganda Premier League.

"Vipers yatukuba naye tekituggya ku mulamwa  gwa kuvuganya ku kikopo. Twagala buwanguzi era Bright Stars tulina okugireka mu kkubiro," Onen bwe yaweze. Vipers yabakuba ggoolo 2-1.

BUL FC yeesigamye ku bateebi omuli;  Deogratius Ojok, Robert Mukongotya ne Richard Wandyaka  okuginoonyeza ggoolo ezinaagituusa ku buwanguzi.

BUL yaakubiri ku ttebo n'obubonero 19, nga Vipers ekulembedde (21) egisinza 2, ate Bright Stars yaakusatu okuva wansi ku bubonero 5, nga mu mipiira 9 gye yaakazannya tennafunamu buwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bbebi gwe baasudde mu ddwaaliro

Omusajja acankalanyizza edd...

OMUSAJJA acankalanyizza eddwaliro bw'atutte bbebi n'amusuulira abasawo nga abalumiriza obutakozesa bukugu ekyaviirako...

UNRA bataddewo amaato okuso...

ABATUUZE mu ggombolola y'e Galiraaya mu disitulikiti y'e Kayunga ababadde batakyasobola kutambula olw’oluguudo...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera n’abamu ku basuubuzi b’omu katale k’e Nakawa.

Kaabuyonjo y'akatale k'e Na...

EYALOGA omugagga Haruna Ssentongo tannassa mbugo! Anti bamututte mu kkooti nga bbanka ya Orient emubanja obuwumbi...

Maj. Kakooza Mutale asuze k...

MAJ Roland Kakooza Mutale n’ekibinja ky'abajaasi be Basuze ku malaalo ga Kasirye Ggwanga nga bamukungubagira nebamutendereza...

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...