TOP
  • Home
  • Rally
  • Ab'emmotoka beebugira za kafubutuko

Ab'emmotoka beebugira za kafubutuko

By

Added 30th October 2019

Ab'emmotoka beebugira mpaka z'akafubutuko nga balwanira obubonero obunaabayamba okusitukira mu ngule y'eggwanga

 Rajiv Ruparelia, omu ku bagenda okwetaba mu mpaka ng'avulumula mmotoka

Rajiv Ruparelia, omu ku bagenda okwetaba mu mpaka ng'avulumula mmotoka

 

ABAVUZI ba mmotoka z'empaka bazzeemu okwebugira ez'akafubutuko ez'omulundi ogw'omunaana ku kalenda ate nga yaakubiri ku ssatu ezeetengeredde omwaka guno.

Oluvannyuma lw'empaka mukaaga ezaakaggwa ku ngule y'eggwanga (NRC) nga zonna zibaddemu okuvuga ezaakafubutuko, kw'ogatta ezaali e Buloba ku Forest Park mu June, ku Ssande nga November 10, yingini zaakuddamu okutokotera ku Forest Park ng'emmotoka zifubutuka.

David Nsobya, akuliddemu amakubo yategeezezza nti  abavuzi bagenda kwetooloola emirundi ebiri, nga buli mwetoloolo guweza kiromita 3.47, omugatte ze kiromita 6.94. Nsobya  era yakubirizza abawagizi okufaayo ennyo eri obulamu bwabwe nga babeera wala n'amakubo, mmotoka mwe zinaayita okwewala obubenje.

 oseph bosa ku kkono ne avid sobya Joseph Bbosa ku kkono ne David Nsobya

 

"Olugendo terwawukanye nnyo kw'olwo abavuzi lwe baatolontoka mu mpaka eziwedde, wabula essira tulitadde nnyo ku kutangira obubenje era tuzingizza olukomera okwetooloola ekifo. Tusaba abawagizi baleme kumenya mateeka, ffenna okunyumirwa omuzannyo," Nsobya bwe yakkaatirizza.

Arthur Blick Junior alina engule y'omwaka oguwedde, y'akyakulembedde n'obubonero 72, n'addirirwa Ronald Ssebuguzi (55), Jas Mangat (55), Hassan Alwi (46), Christakis Fitidis (44), Hassan Nasser (43), Omar  Mayanja (36), Rajiv Ruparellia (32), Ponsiano Lwakataaka (30), Abdul Kateete(30), n'abalala.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo