TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Kitara ne Kansai Plascon bali butoola mu Big League

Kitara ne Kansai Plascon bali butoola mu Big League

By

Added 31st October 2019

Omutendesi wa Kitara FC aweze okufiira ku Kansai Plascon asobole okufuna obubonero obunaamuyamba okwesogga 'Super'

 Robert Ssentongo (ku kkono) owa Plascon, ng'alwanira omupiira ne DEvis Mugume owa Kitara sizoni ewedde (Ekif. Drake Ssentongo)

Robert Ssentongo (ku kkono) owa Plascon, ng'alwanira omupiira ne DEvis Mugume owa Kitara sizoni ewedde (Ekif. Drake Ssentongo)

 

Lwakuna mu Big League

Bukedea - Katwe United, Bukedea

Doves All stars - Kiboga, Zombo

Light SS - Kataka, Amuria

Dove FC - Ndejje University, Katushabe

Kansai Plascon - Kitara, Luzira

Nyamityobora - New Villa, Kakyeka

Mark Twinamasiko, omutendesi wa Kitara FC, awera kuzzaayo Kitara mu play offs za Big League

Kitara, abaakamala sizoni nnya mu Big League nga bbiri ku zino bawandukira ku ‘Play offs', bakyalira Kansai Plascon nayo eyawandukira ku ‘Play offs sizoni ewedde. Omupiira guli Luzira nga buli omu anoonya bubonero obunaamusobozesa okwesogga ‘Super' sizoni ejja.

Twinamasiko agamba nti emipiira gy'oku bugenyi agiteekako nnyo essira kuba gye giba gisinga okukaluba, ate akimanyi nti kasita afunirayo obubonero kyongera okutangaaza emikisa gya ttiimu kuba awaka kiba kyangu.

"Plascon ze zimu ku ttiimu ez'amaanyi, era ssinga ngifunako obubonero 3 kiba kinkolera," Twinamasik bwe yagambye.

Kitara y'ekulembedde ekibinja kya Rwenzori n'obubonero 7, mu mipiira 3.

 

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...