TOP

Villa ne URA baakwepiima mu liigi

Added 31st October 2019

URA yaakawangula emipiira ebiri (Maroons ne Onduparaka) ku munaana gye yakazannya bakubiddwa 2 n’amaliri ga mirundi 4 sizoni eno.

 Ronald Kigongo (ku kkono) owa URA ng'ayavuza Sulaiman Majanjalo (ali wansi). Omupiira URA yaguwangulira ku ggoolo 1-0 e Namboole.

Ronald Kigongo (ku kkono) owa URA ng'ayavuza Sulaiman Majanjalo (ali wansi). Omupiira URA yaguwangulira ku ggoolo 1-0 e Namboole.

SC Villa-URA, 10:00 Luzira

BUL-Kyetume 10:30, Jinja

BATABANI ba Sam Ssimbwa aba URA bakomawo mu nsiike enkya nga banoonya buwanguzi bwokka oluvannyuma lw'okuwangula omupiira gumu gwokka mu etaano egisembyeyo.

Bukya sizoni eno etandika URA ebintu tebinnagitambulira bulungi era Sam Ssimbwa ali ku puleesa kuba y'omu ku batendesi abaasinga okwetaba mu katale k'abazannyi nga liigi tennatandika.

 bazannyi ba  Abazannyi ba URA FC.

 

URA yaakawangula emipiira ebiri (Maroons ne Onduparaka) ku munaana gye yakazannya bakubiddwa 2 n'amaliri ga mirundi 4 sizoni eno.

Enkya bakyalira SC Villa e Luzira. Villa eri ku ffoomu kuba emipiira etaano egyisembyeyo tekubiddwaamu wabula erina amaliri ga mirundi 3. Bali mu kyakuna n'obubonero 16.

Edward Kaziba atendeka SC Villa mugumu nti ttiimu ye eri mu mbeera nnungi okwenganga URA mupiira ogugenda okubeera ogwa kasameeme kuba ttiimu zonna zagala buwanguzi.

 aziba ngayogera nabazannyi ba illa Kaziba ng'ayogera n'abazannyi ba Villa.

 

Mu ngeri y'emu BUL ekyaza Kyetume FC ng'eyagala buwanguzi bwokka okwekumira mu kyokubiri oluvannyuma lw'okukola amaliri ne Bright Stars ku Lwokubiri.

Wabula George 'Best' Nsimbe atendeka Kyetume FC awaga kusuuza BUL bubonero oluvannyuma lw'okukubwa Vipers (2-1) e Namboole ku Lwokubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mukyala Nsegumire nga yeetondera Mboize.

Aba NRM mu Kampala beeyuliz...

Olukiiko olwayitiddwa okutabaganya abeesimbyewo ku kkaadi y’ekibiina kya NRM mu Kampala Central n’abo baamegga...

Mwine Mukono

Mwine alina emisango mu kkooti

OMUBAKA wa munisipaali ya Mityana, Francis Zaake yaloopa DPC Mwine Mukono ne banne okuli RPC Kagarura n’abalala...

Mwine ng'ayogera eri abatuuze b'e Mityana abaali beekalakaasa.

Ebikolobero ebizze birondoo...

ABADDE aduumira Poliisi y’e Mityana, Alex Mwine Mukono eyaduumidde abaakubye ttiyaggaasi mu bannaddiini n’abeekika...

Ssentamu ng'asiiga langi ku ddame.

Bayize okukola ebitimbibwak...

HADIJAH Ssentamu akozesezza ekiseera ky’obulwadde bwa ssennyiga omukambwe okugatta obwongo n’abaako ky’ayiiya....

Ono oluggya yaluteekamu ebitebe abantu we bawummulira.

Engeri gy'osobola okukola s...

Oluggya bwe lusukka mu lumu ziba ziyitibwa empya era ebimu ku byafaayo byalwo mu Uganda lubadde lwakwewunda nga...