TOP

Sinnaggwa ku mpagala mu nsamabaggere - Golola

Added 1st November 2019

Sinnaggwa ku mpagala mu nsamabaggere - Golola

MOSES Golola ayanukudde ababadde beebuuza oba nga waakunnyuka ensambaggere. Abagambye nti okuva mu muzannyo guno alina kumala kulwanira mu maaso ga Ssaabasajja ne Pulezidenti Museveni.

Yasabye abamuyeeya bw'akaddiye okunuuna ku vvu n'agamba nti: Abamu baluzunza mbu ke nnazannye ffirimu mpedde ku mpagala, era ensamabggee sikyazisobola.

Abalina endowooza eyo bakimanye nti buno bwe bwakabaka bwange ate si be bandeeta mu muzannyo guno.

Golola y'omu ku bali mu ffirimu eyitibwa ‘Life of a Champion', egenda okulagibwa leero ku Lwokutaano, ku Cinemax Hall e Kololo.

Mu kiseera kye kimu, Golola yagudde mu bintu bwe yakubiddwa enkata ya bukadde 10. Kkampuni ya High Ppo Pictures ne YoTV, ze zaamuyiyeemu kavvu ono.

Aggrey Mugisha owa YoTV, yagambye baagala Golola azimbe akademi asobole okutumbula ebitone bya bamusaayimuto abanaatwala omuzannyo gw'ensambaggere mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....