TOP

Eya Uganda egenze mu za kwegezaamu

Added 2nd November 2019

Abakulira cricket bagamba nti Zimbabwe, nnungi mu cricket ng'okwegezaamu nayo, kyakubayamba okufuna obukodyo obulungi.

 Katende n'abazannyi abaagenze

Katende n'abazannyi abaagenze

Ttiimu y'eggwanga eya Cricket, esitula kiro kya leero ku Lwomukaaga, okugenda e Zimbabwe okwogezaamu ne ttiimu zaayo nga yeetegekera empaka ezigenda okubeera e Oman ku nkomerero y'omwezi guno.

Aba Uganda Cricket Association (UCA) bagamba nti  olw'omutindo omulungi, Zimbabwe gw'eriko ku lukalu lwa Afrika mu Cricket, baagadde ewe Cranes okwegezaamu okulungi nga yeetegekera empaka z'ekibinja kya ICC World Cricket Challenge League Group B ezinaabeera mu Oman nga November 30 - December 13.

Omumyuka wa ssabawandiisi wa National Council of Sports (NCS), David Katende ye yakwasizza ttiimu eno ey'abazannyi 16 bbendera okugenda mu kwetegeka kuno.

Ku Mmande, baakutandika okwegezaamu ne kiraabu ya Takasinga ate ku (Lwakubiri) bazannye O. Hararians ate ku Lwokutaano bazannye ttiimu y'eggwanga ya Zimbabwe ey'abali wansi w'emyaka 19.

"Eggwanga libataddemu obwesige kubanga mmwe mutunuuliddwa okubbulula ttiimu ya Uganda okuva mu kibinja ekyokusatu okudda mu kyokubiri omwaka ogujja mu mpaka ezinaabeera mu Oman," Katende bwe yabuulidde abazannyo.

Ate ye kapiteeni omuggya, Brian Masaba eyasikidde Roger Mukasa yagenze awaga nti; "Nja kuduumira bulungi ttiimu kuba nakikolako mu ttiimu y'abato ey'abali wansi w'emyaka 19 mu 2017. Tumanyi ekigendererwa kya ttiimu,".

Ttiimu essiddwaamu abazannyi bana abapya okwongera okuvuganya nga mu mpaka ze beetegekera mu Oman, baakutwalako 12.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...