TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Eya Libya esubizza Proline obukadde 990 bwe ddu! Kyenkana akawumbi kalamba kagiyise mu ngalo

Eya Libya esubizza Proline obukadde 990 bwe ddu! Kyenkana akawumbi kalamba kagiyise mu ngalo

Added 3rd November 2019

Eya Libya esubizza Proline FC obukadde 990 bwe ddu! Kyenkana akawumbi kagiyise mu ngalo

Proline 0-2 Al Nasser (Libya)

Omugatte; (Al Nasser 4-2 Proline)

PROLINE FC ereese Bannayuganda emitaafu n'okufuluma ekisaawe ky'e Lugogo nga beesooza bw'ewanguddwa kiraabu ya Libya n'esubwa ne ssente obukadde 990 be ddu.

Al Nasser FC ye yannyogozza Proline bwe yagikubye ggoolo 2-0 ne yeesogga enzannya z'ebibinja bya ttiimu omunaana mu CAF Confederation Cup. Bano era baayiseemu doola 275,000 (eza Uganda obukadde 990), CAF ze yassaawo eri buli ttiimu egenda mu mpaka z'ebibinja.

Proline, eyazze eyagala amaliri agataweza ggoolo bbiri okuyitamu olw'ogwasooka ogwali e Misiri okuggwa ggoolo 2-2, embeera yagitabuseeko Khalid Almaryami bwe yakedde okugiteeba mu ddakiika eyookuna.

Okuva wano yalumbye obutasalako ng'aba ba Al Nasser bakuumye butiriribi Hamis ‘Diego' Kiiza era ennumba nnyingi zaagudde butaka. Yakubye ku muti enfunda bbiri ng'abagenyi bwe beerwaza okutwaliriza obudde.

Omutendesi Matia Lule eyayimiridde omupiira gwonna, yaleese Allan Egaku ne Joshau

Okiror kyokka nga Proline enyigiriza, ate Ibrahim Osama yasindise ennyanda okuva mu yaadi nga 40 n'enywa ekisaawe ne kisiriikirira.

Eggulo, KCCA yattunse ne Paradou mu Algeria. Baalemagana 0-0 e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...