TOP
  • Home
  • Rally
  • Musaayimuto yeeweredde banne mu ddigi

Musaayimuto yeeweredde banne mu ddigi

Added 4th November 2019

Okuwa ngula engule y'omwaka guno, Ashraf Mbabazi alina okuwangula wakiri enkontana 2 mu mpaka za laawundi eyoomusanvu e Garuga.

 Mbabazi ng'abusizza ddigi.

Mbabazi ng'abusizza ddigi.

MUSAAYIMUTO Ashraf Mbabazi alaalise banne bwe baavuganya ku ngule y'omwaka mu ddigi nga bw'atagenda kuddiriza muliro mu mpaka ezigalawo kalenda ya ddigi eza ‘Mountain Dew Motorcross Championship' laawundi eyoomusanvu.

Mbabazi, avugira mu mutendera ogw'abato (MX50cc Junior) omuli; Jonathan Katende, Liam Ntale, Talha Kateete, Larry Isaiah Sekamwa ne Sydney Ethan Kayizzi.

 amusaayimuto nga balwana okuyisa ddigi mu bisooto Bamusaayimuto nga balwana okuyisa ddigi mu bisooto.

 

Mbabazi alina obubonero 321 ng'amudiridde Jonathan Katende alina 285 ne Liam Ntale (275) mu kyokusatu. Bano (Katende ne Ntale) okuwangula, beetaaga okumegga Mbabazi mu mpaka za laawundi eyoomusanvu.

 babazi Mbabazi.

 

"Sigenda kukola nsobi yonna kusuula bubonero kuba omwaka guno njagala kuwangula ngule era abandi ku bbampa mbasekeredde kuba sigenda kubawa kanya kampangula. Mbasinga obubonero butono (36) era ngenda kukola ekisoboka mbamegge mu nkontana wakiri bbiri nsobole okuwangula," Mbabazi bwe yagambye.

Empaka zaakutojjera e Garuga nga November 24.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...