TOP

Blick alidde engule ya October

Added 5th November 2019

Arthur Blick Jr yasooka kuwangula mpaka z'e Garuga n'azaako ez'e Hoima omwezi oguwedde.

 Lukia Wamala (ku kkono) ng'akwasa Blick ekirabo ky'omwezi.

Lukia Wamala (ku kkono) ng'akwasa Blick ekirabo ky'omwezi.

Arthur Blick Jr kafulu wa mmotoka z'empaka awangudde engule ya October eya ‘Real Stars Sports Awards'.

Ono yamezze banne okuli; Hassan Alwi ne Rajiv Ruparelia bwe baasinga okulaga omutindo omulungi mu mpaka z'e Hoima omwezi oguwedde. Mu mwezi gwe gumu, yawangula n'empaka z'omu bisaawe (sprint) ezaali e Garunga.

 lick  ngavuga e oima Blick ng'avuga e Hoima.

 

Blick ye yawangula empaka z'e Hoima eza Total Kabalega Rally nga kino kyatangaza n'emikisa gye okusitukira mu ngule y'eggwanga eya NRC. Ali mu kyaakubiri n'obubonero 385 ng'akulembedde Yassin Nasser alina 415. Ku ngule y'ez'omu bisaawe, Blick yaakulembedde n'obubonero 75.

Engule eno, Blick yagitonedde abawagizi be bwe yagambye nti, "Singa si bawagizi saandituuse ku buwanguzi mu mpaka mwe nneetabye omwezi oguwedde era nbasuubizza sigenda kubayiwa ne mu mpaka eziddako e Nakaseke."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...