TOP

Abawala baakwabika mu ddigi

Added 5th November 2019

Ku Aminah Zawedde, Esther Mwangala ne Shadia Kateete n'anaavugiza ddigi ye obukodyo obusinga, waakusitukira mu ngule y'omwaka guno.

Kateete (ku kkono), Mwangala (wakati) ne Zawedde.

Kateete (ku kkono), Mwangala (wakati) ne Zawedde.

BANNABAWALA basatu; Aminah Zawedde Mayanja, Shadia Kateete ne Esther Mwangala bakwabika ebifuba mu mpaka za ddigi ezaakamalirizo eza ‘Mountain Dew Motorcross Championship' laawundi eyoomusanvu ezigenda okubeera e Garuga nga November 24.

Bano bavugira mu mutendera ogwookuna (MX85cc) wabula ng'anaakola ennyo mu mpaka eziddako, yajja okusitukira mu ngule eno.

Zawedde yaakulembedde n'obubonero 102 ng'asinga Shadia Kateete obubonro 27 bwokka ate Mwangala owookusatu bamusinga 42. Kateete awaga nti waakusitukira mu ngule eno kuba talina kyatya ku banne bwe bavuganya.

 ateete ku ddigi Kateete ku ddigi.

 

"Ndi mugumu nti ng'enda kuwangula engule eno kuba nfunye obukodyo obw'enjawulo n'amagezi okuva eri mukulu wange Sharifah Kateete." Kateete bwe yagambye.

Empaka zino zaatumiddwa ‘Grand Finale' nga zigenda kwetabwamu abavuzi bonna nga balwanira obubonero ku ngule z'eggwanga ez'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....